Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikakasizza nti omupiira ogw’omukwano ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes gw’ebadde egenda okuzannyamu ne Zanzibar gusazidwamu.
Omupiira guno gubadde gwakuzannyibwa ku Thursday nga 11 June,2026 mu kisaawe kya Amaan Stadium e Zanzibar, kyokka gusaziddwamu ku nsonga ez’ebyobulamu ez’ekirwadde kya Ebola.
Omupiira gubadde gwa bikujjuko eby’emyaka 100 egy’ekibiina ekiddukanya omupiira e Zanzibar ekya Zanzibar Football Federation gyekyakamala nga kiweereza omupiira e Zanzibar.
Omutendesi wa Uganda Cranes Paul Joseph Put abadde yayise ttiimu y’abazannyi 22 okwetegekera omupiira guno.
Gyebuvuddeko era emipiira 2 egy’omukwano Ugada Cranes gyeyalina okuzanya ne Tanzania ne Madagascar gyasazibwamu era olwa Ebola.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












