Akakiiko keby`okulonda aka Electoral Commission of Uganda mu butongole katandise okusunsula abegwanyiza okuvugunya mu kujjuza ekifo ky`omubaka wa parliament omukyala owa district ye Kalangala, ekyalimu Omugenzi Hellen Nakimuli eyafa.
Hellen Nakimuli yafa nga 19 April,2026, nga yali alindiridde kulayizibwa ku kisanja ekyokubiri ng’akiikirira Kalangala.
Omwogezi w’akakiiko keby`okulonda mu ggwanga Julius Mucunguzi, ategenzeeza nti okusunsula kuno okutandiise olwaleero nga 10 June,2026 kwakumala ennaku bbiri, ate okulonda kubeeyo nga 24th June.#











