Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki KCCA, mu butongole kikkiriza omwoleso gwa CBS Pewosa okugenda mu maaso okuva nga 8 okutuusa nga 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo, oluvanyuma lw’okwemenneenya ebyetagisa byonna mu kutangira ekirwadde kya Ebola.
Omwoleso gugenda kubeera mu Lubiri e Mengo, mu kifo ekigazi abantu ng’abantu basobola okwetaaya n’okwewa amabanga agamala,muteekeddwamu ebifo omw’okunaabira engalo nga bayingira mu mwoleso, saako ennaku eziwera ez’omwoleso ng’abantu baakuyingira mu nnaku ez’enjawulo.
Akulira eby’obulamu mu KCCA mu division ye Lubaga Dr. Denis Buluma,asabye abantu abagenda mu mwoleso okugoberera amateeka agatekeddwawo ministry y’ebyobulamu, bongere okwetangira ekirwadde kya Ebola okusaasana.
Omwoleso guno gubeeramu emisomo egyenjawu egibangula abantu mu by’enfuna, okuddukanya business zabwe, ensiisira z’ebyobulamu, okusomesa ku by’emisolo, n’obuweereza obulala bungi.
Okuyingira mu mwoleso kwa shs 5000 zokka.#













