Akakiiko ka parliament akasunsula n’okukuba ttooki mu bantu omukulembeze w’eggwanga babeera awadde obukulu, kansunsudde 42 ku lunaku olusoose, mu nteekateeka y’okusunsula abaalondeddwa okubeera ba minister mu government mu kisanja kino 2026/2031.
Akakiiko kano keewadde ennaku bbiri okusunsula abantu abo abawerera ddala 81.
Abasunsuddwa ku lunaku olusoose kuliko General Edward Katumba Wamala eyalondebwa mu kifo kya minister w’abakozi ba goverment, era oluvanyuma lw’okusunsulwa agambye nti wakutuula nebaweereza banne mu ministry gyeyasindikiddwa batunuulire ebizibu ebiruma abakozi n’okusoomozebwa okuliyo basale amagezi
Dr Chris Baryomunsi eyalondebwa ku kifo Kya minister webyobulamu naye asunsuddwa, agambye nti amaanyi mu buweerezabwe agenda kugateeka mu kutangira ebivaaako endwadde, eggwanga likendeeze ku nsimbi ezigenda mu kujjanjaba abantu.
Baram Baruhagare Ateenyi naye asunsuddwa ku kifo kya minister wa government ez’ebitundu, era eweze okutereeza obuweereza mu government ez’ebitundu.
Abalala abasunsuddwa kubaddeko Dr. Chrispus Kiyonga ku kifo ky’omumyuuka owokubiri owa Ssabaminister w’eggwanga, Frank Tumwebaze ku kya minister w’ebyobulimi n’obulunzi.
Justine Kasule Lumumba ku kya minister w’ebyempuliziganya n’okuluηamya eggwanga, Hajjat Lukiya Nakadama ku kifo ky’omumyuka owokusatu owa Ssaabaminister w’eggwanga , General Henry Tumukunde ku kya minister w’ekikula ky’abantu, Sanjay Tana ku kifo kya minister w’obusuubuzi n’amakolero.
Ensonda mu kakiiko kano zibuulidde CBS nti Sanjay Tana yegaaanidde ddala eby’okubeera n’obutuuze obw’emirundi ebiri nga bwebibadde byogerwa, era nti asabye ababaka ku kakiiko ako akasunsula nti baddeyo bassome ebyafaayo bya parliament bamanye ekituufu.
Sanjay Tana bwebaali bayisa etteeka erikugira ba minister okubeera n’obutuuze obwensi ezisoba mu emu, yoomu ku baawagira etteeka eryo.
Abalala era abasunsuddwa kuliko Robert Migadde Ndugwa eyalondebwa okubeera minister omubeezi ow’ebyobuvubi, General Kahinda Otafiire eyalondebwa nga minister w’amazzi n’obutonde bw’ensi, Prof Ephraim Kamuntu eyalondebwa okubeera minister w’ensonga zomunda mu ggwanga.
Judith Nabakooba yalondebwa ku kya minister w’ebyettaka n’amayumba, Hajjati Minsa Kabanda yalondebwa ku kya minister wa Kampala, Kiryoowa Kiwanuka minister w’ebyokwerinda nabo basunsuddwa.
Abalala abasunsuddwa ye Gen. Jim Muhwezi ku kifo kya minister w’obutebenkevu bw’eggwanga, Fred Byamukama ku kifo kya minister w’enguudo n’entambula, saako Dr Jane Ruth Aceng asunsuddwa ku kifo kya Nampala wa government mu parliament.
Akakiiko kano akakulirwa sipiika wa parliamen Jacob Markson Oboth Oboth kasuubirwa okusunsula abantu 39 abasigaddeyo, ku lunaku olw’okubiri nga 02 June.2026.
Alipoota enaava mu kunsunsula ba minister bano, yakusindikibwa eri omukulembeze w’eggwanga alabe kyazaako, naye nga ensonda mu kakiiko zitubuulidde, nti ku lunaku olusoose, bonna abasunsuddwa tewali kakiiko gwekasanzeemu buzibu era bonna bayisiddwa.#













