Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Asimye neyebaza abantu bonna abakoledde ewamu n’ekitongole kye ekya Kabaka Foundation okussaawo obuweereza obutumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda .
Omuumbejja Joan Nassolo Tebattagwabwe yeyetisse Obubaka bw’Omutanda, ku mukolo gw’okujjaguza emyaka 30 bukya kitongole kya Kabaka Foundation kitandikibwawo,gubadde ku Royal National Hotel mu London ekya Bungereza.
Mungeri yemu Kabaka alagidde abantube okwongera okubeera abayiiya mu buli byebakola okusobola okuwagira emirimu ebikolebwa ekitongole kye, nabo okwongera okukyusa embeera y’obulamu bwabwe.
Ssalango Geofrey Kibuuka atwala essaza lya Kabaka erya UK Northern Island yeyanzizannyo Ssabasajja Kabaka okutandikawo ekitongole kya Kabaka Foundation, kyagambye nti kiyambye abantu bangi mu by’obulimi ebyenjigiriza n’ebirala.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation mu UK ne Northern Island Henry Mutumba agambye nti obuvunaanyizibwa Ssabasajja Kabaka bweyabawa bubayambye okumanya ebintu bingi awamu n’okuyamba abantu ba Kabaka.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala ategezezza nti balina enteekateeka ezenjawulo ezirubiriddwamu okukulakulanya abantu ba Kabaka mu myaka emirala egijja.
Bisakiddwa: Nakato Jennifer













