Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza emirimu egikolebwa Abakyala mu nkulaakulana y’eggwanga wadde baba n’ebibanyigiriza bingi.
Katikkiro yebazizza Abakyaala olw’okubeera abeesimbu mu nkozesa y’ensimbi, kyokka naabasaba okukendeeza obukodo.
Abadde aggalawo Ttabamiruka w’abakyala ba Buganda ow’omulundi ogwe 10, mu mwaka 2026 ng’ayindidde mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro ajjukizza abakyala okunyweza enteekateeka z’obwegassi nga bayita mu bulimi ,obulunzi n’obusuubuzi, kweelkusaba Abaami babawagire mu byenkulaakulana.

Nnabageraka Sylvia Nagginda yeyagguddewo Ttabamiruka ono, era naasaba abakyala, okufaayo ennyo okulabirira Emiti ejisimbibwa mu nkola ey’okuzzaawo Obutondebwensi.
Minister wa Bulungibwansi n’Obutondebwensi Owek Hajjati Mariam Mayanja Nnassejje, asabye Abakyala okukulemberamu enkyukakyuka y’Enkulaakulana ezza Buganda ku Ntikko, nga bekuuma nga balamu n’okufa ennyo ku Butondebwensi.
Abamu ku bakyala abetabye mu Ttabamiruka ono batenderezanyi emisomo ejibawereddwa gyebagambye nti jibayambye nnyo.

Miria Kaweireku okuva mu Uganda Investment Authority asomesezza Abakyaala ebikwatagana n’Obusuubuzi omuva ensimbi, okutumbula business n’Obwegassi.
Esther Nayigoya okuva mu Uganda National Bureau of Standards asabye Abakyala abaliko byebakola okufa ennyo ku kubigattako Omutindo, nakikkaatiriza nti UNBS yakukwasizaako bannamakolero agatandika Obutandisi.
Ttabamiruka ono atambulidde ku mulamwa ogwÓkusobozesa Abakyala okukulemberamu enkyukakyuuka mu byobusuubuzi,Ebyobulamu ne Bulungibwansi.

Ttabamiruka w’omwaka guno 2026 yetabiddwalako Abantu abenjawulo omubadde Abalangira nÁbambejja, Namasole Kanyange,Omukubiriza wÓlukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule, abebitiibwa abaawummula omubadde, ba minister bÓbwakabaka abaliko nábaawummula okubadde Owek Apolonia Mugumbya, Owek Sylvia Mazzi , abaami bÁmasaza, ababaka ba parliament n’abantu kinoomu.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Nakato Janefer












