Omubaka wa Budama west Jocob Oboth Oboth alondeddwa ye sipiika wa parliament eye 12, azze mu bigere bya Nnalongo Annet Anitah Among.
Mu kulonda okuyinde a ku kisaawe e Kololo Oboth Oboth munna NRM afunye obululu 441, addiriddwa munna NUP Paul Mwiiru owa Jinja East n’obululu 60 , ate president wa Democratic Party Nobert Mao Omubaka wa Laro pece afunye obululu 16, songa obululu 2 bufudde.
Parliament erina okuba n’ababaka 529, wabula 519 bebakubye akalulu.
Wabula ekifo ky’omubaka omukazi owe Kalangala kikyali kikalu, olw’omubaka eyaliyo Hellen Nakimuli eyali owa NUP okufa.
Jacob Oboth Oboth olumaze okulayira nasuubiza okulwanyisa enguzi, neyeyama n’okukyuusa ekifaananyi kya Parliament.













