Ababaka ba parliament 4 bebakyekenneenyezebwa, okulondebwako anakulembera oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 (Leader of Opposition).
Ensonda zibuulidde CBS nti amannya agakyetegerezebwa era agoogerwako nti kwekugenda okuva omu , kuliko Joel Ssenyonyi omubaka wa Nakawa Division West nga yabadde akulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 11.
Abalala ye John Baptist Nambeshe omubaka wa Manjiya nga yabadde Nampala w’oludda oluvuganya government mu parliament okumala emyaka 5.
Paul Mwiiru omubaka wa Jinja South East eyasala eddiiru okuva mu ANT neyegatta ku NUP.
Omulala ye Patrick Nsamba Oshabe omubaka wa Kassanda North naye kitegerekese nti ekifo kino akyeyagaliza.
Kigambibwa nti John Baptist Nambeshe nga ye mumyuuka wa President wa NUP atwala obuvanjuba bw’eggwanga, emyaka 5 egiyise azze asuubizibwa abakulu mu kibiina ki NUP nti bwekataligirya ajja kuweebwa ekifo kyakulira oludda oluvuganya government wabula kino tekinatuukirira.
Wabula ensonda mu NUP zibuulidde CBS nti omubaka wa Nakawa Division west Joel Ssenyonyi ayolekedde okuzzibwa mu kifo kino ekyakulira oludda oluvuganya government, olwo ye Nambeshe John Baptist aweebwe ekifo kyobwa Commissioner wa parliament.
Ensonda era zigamba nti omubaka Paul mwiiru ne Patrick Nsamba Oshabe kwekwolekedde okuva omu anaalondebwa nga nampala woludda oluvuganya government mu parliament eye 12, ate omulala akulire akakiiko akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo aka PAC oba Cosase
Mu kiseera kino, NUP era yaseembye Paul mwiiru okukwatira ekibiina kino bendera mu kuvuganya ku kifo kyobwa sipiika,oba oli awo gyatalina lugendo lunene nnyo olwa NRM okuba nti yeesinza ababaka abangi abasalawo ensonga mu parliament.
Ababaka okuli George Musisi owa munisipaali ye Kira atunuuliddwa okulondebwa okukulembera akakiiko ka Cosase songa ababaka okuli Betty Nambooze Bakireke, Francis Zaake Butebi nabalala ensonda zibuulidde CBS nti boolekedde okusindiikibwa mu parliament zebweru okuli eya Pan African parliament, Common wealth parliament nendala nti bakiikirire oludda oluvuganya government ya Uganda oluuyi olwo.
Ensonda zibuulidde CBS nti omubaka wa Nyendo mukungwe Lubowa Ssebina Javiira nomubaka wa munisipaali ye Ntungamo Gerald Karuhanga owa ANT saako omubaka omukyala owa district ye Wakiso, nabo batunuuliddwa okuggonomolwako obukulu mu bukiiko obukulemberwa oludda oluvuganya government.
Omubaka wa munisipaali ye Iganga munnamateeka Mudiobole Abed Nasser naye atunuuliddwa okuggonomolwako ekifo ekinene nga singa tewabeerawo kikyuuse yandirondebwa ku kifo Kya Ssaabawolereza w’oludda oluvuganya government.
Ababaka ba PFF ababiri okuli Betty AOl Ochan omubaka omukyala owekibuga Gulu ne Asinansi Nyakato omubaka omukyala owekibuga Hoima kigambibwa nti nabo bagenda kuweebwa ebifo ku bukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament.
Kisuubirwa nti mu bbanga lya wiiki 2 okuva kati obukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament bwakuba nga busaliddwawo.
Ebyenkomeredde ku bukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 ,birina kusalibwawo omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ali mu ggwanga lya America.#













