Muteesa I Royal University ayanjudde embuga ekikopo ky’Omupiira gw’ebigere eky’Amatendekero agawaggulu kyebaawangudde eky’omwaka 2026.
Bakikwasizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu Bulange e Mengo.
Guno gwe Mulundi gwa Muteesa I Royal University ogusoose okuwangula ekikopo kino.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abebazizza okubeerako ekintu eky’amaanyi kyebasaako omulaka, okusiinga okwemalira ku kusoma kwokka.
Alabudde abavubuka bannabitone ku bulwa obuli mu butafuga ttutumu, bwagambye nti y’nsibuko ya Mukenenya,n’abazannyi obuteewa kitiibwa nti kyandibaviirako okuwakankula endwadde, naabasaba beddeko.
Katikkiro era abalabudde ku ttamiiro , lyagamye nti litambulira nnyo ku ttutumu.

Katikkiro mu ngeri eyenjawulo yebazizza Abazannyi n’Abaddukanya tiimu y’Omupiira eya Muteesa I Royal University eya The Royal Lions, olw’okwoolesa omutindo nebatuuka okumegguza Univestiry zonna mu Uganda.
Amyuuka Chancellor wa Muteesa the first Royal University Associate Prof Vincent Kakembo, agambye nti Obuwanguzi obwatuukiddwako tebwabadde bwa Mukisa bukisa, wabula okukola ennyo obuteebalira, mungeri eyenjawulo neyeebaza emikutu ky’Obwakabaka egy’Amawulire olw’Obuwagizi.
Memba w’Olukiiko olukulembera ssettendekero wa Kabaka era nga yaliko omubaka wa Makindye Ssaabagabo Emmanuel Kigozi Ssajjalyabeene, asabye abalina Obusobozi obwenjawulo bakwasizeeko ssettendekero ono, asobole okutwala abazannyi mu ggwanga lya Misiri ne Tanzania gyebujjako.
Jjunju Eddy nga ye captain w’Abazannyi b’Omupiira aba tiimu y’Omupiira gwebigere ,yebazizza Obwakabaka olw’okubawa Omukisa nebasoma, ate nebazannyira Royal Lions nebagituusa ku buwanguzi obusukkulumu mu Uganda yonna.
Bisakiddwa: Kato Denis












