Government ng’ekolaganira wamu n’abakulembeze b’eddiini ezikuza olunaku lw’abajjulizi olwa nga 03 June, bakkaanyizza kimu okwongezaayo enteekateeka z’okulamaga olw’okwerinda ekirwadde kya Ebola ekiyitibwa Bundibugyo Ebola.
Ekirwadde kya Ebola kyabaluseewo mu bitundu by’obuvanjuba bwa Democratic Republic of Congo ebiriraanye Kasese, era ng’abantu abasoba mu 80 bebagambibwa okuba nga battiddwa ekirwadde kino mu bbanga lya wiiki 2 okuva lwekyabalukawo.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni yayisizza okuluηηamya kuno, naagamba nti wabaddewo ensisiinkano etudde eyetabiddwamu bannaddiini, ebakugu mu by’obulamu nabalala , nebakaanya nti olunaku lw’abajjulizi olw’omwaka guno 2026 lwongezebweyo okutuusa nga embeera ezze mu nteeko.
Wabula mu kiwandiiko president Museveni kyatadde ku mukutu gwe ogwa X talambuludde oba nga ng’olunaku lw’abajulizi olubaawo buli nga 03 June, oba nga lunaakuzibwa emyezi egiddako ng’embeera eteredde, oba nga lujulidde mwaka gujja.
Museveni awabudde abalamazi ababadde baatandika edda okulamaga okwolekera Namugongo baddeyo gyebaavudde, nti kubanga kati y’engeri yokka eyokutangira okusaasanya kwekirwadde kino.

Buli nga ennaku zomwezi 3 omwezi ogwokukaaga , abakatoliki nabakulisitaayo balamaga e Namugongo okukuza olunaku lw’abajjulizi.
Mu ekelezia katolika, essaza lya ekelezia katolika erye Kaseese lyeribadde liteekateeka omwaka guno 2026, era enteekateeka zibadde zitambula bukwaku.#













