Abantu abasoba mu 10 bebaggyeyo empapula ku kitebe ky’ekibiina kya NUP, nga bagala baweebwe kaadi y’ekibiina okuvuganya ku kifo ky’okuddamu okulonda omubaka omukyala owe Kalangala.
Ekifo kino kyalimu Hellen Nakimuli eyali owa NUP, yafa nga 19 April,2026, nga yali alindiridde kulayira ku kifo kino.
Akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino ekya NUP kamalirizza okukwata empapula za beegwanyiza ekifo kino, omulimu ogumaze ennaku 4 nga gukwazza.
Abamu ku bagyeyo empapula kwekuli Irene Nampala muganda w’omugenzi Hellen Nakimuli.
Abalala ye Nakitende Maria,Nassiwa Jesca,Naluggya Betty n’abalala, era nga bano bakutandiika okusuunsulibwa ku Saturday nga 16 May,2026.
Akulira eby’okulonda mu Buganda mu kibiina kya NUP Johnmary Ssebuufu, alabudde abegwanyiza ekifo kino okwewala banna kigwanyizi mu kitundu abaabaggyako ensimbi nti kaadi ya NUP etundibwa, agambye nti ababunyisa enjiri eno bagezaako kuttatana kibiina.#










