Ekitongole ekyenkulaakulana ekya Nsindikanjake CBS PEWOSA Development and Financial Initiative Limited ,kironze ssentebbe w’olukiiko olufuzi omuggya .
Sentebbe omugya ye Mw.Luzze Andrew Kaggwa, mukugu mu byenfuna ne nsubulagana wakati wa Mawanga, era nga muwabuzi eri ebitongole ebitwala ebintu mu gwanga lya America.
Omuk.Kaggwa azze mu bigere bya omukungu David Balaaka, nga y kati yaakulira olukii6ko olukulembera CBS Radio.
Omukungu David Balaaka abadde Ssentebbe w’olukiko lwa Nsindikanjakke ategezezza nti ebbanga ery’emyaka 5 gy’amaze nga ye Ssentebe w’olukiiko lwa Nsiindikanjake bakoze ebintu ebyenjawulo omuli Okuzimba enkolagana n’ebitongole bya government eya wakati ebyenjawulo okusobola okukulakulanya.
Ategeezezza nti basobodde okukulakulanya abantu ba Kabaka, okukola emikago enjenjawulo neboongera ku mutindo gw’ebintu byebakola, era asabye amudidde mu bigere okutandikira wakomye okutwala ekitongole mu maaso.
Ssentebe w’olukiiko oluddukanya Nsindikanjake CBS PEWOSA Development and Financial Initiative Limited Mw.Luzze Andrew Kaggwa ategezezza nti bagala abantu abalina kyebakola okubafunira obutale wamu n’okwekulakulanya .
Mu ngeri yeemu Francis Kisirinya nga Memba ku Lukiiko luno alondeddwa nga Ssentebe w’akakiiko k’ebyobusuubuzi, era nga yakulira ekitongole ekya Uganda Agro Business Alliance ekivunanyizibwa kukutumbula eby’obulimi.m era aweze nti wakukola obutaweera okulaba ng’abantu ba Kabaka baganyulwa mu byebakola.
Olukiiko oluddukanya Nsindikanjake CBS PEWOSA Development and Financial Initiative Limited, lutuulako ba Memba 8 okuli Omukungu Luzze Andrew Kaggwa Ssentebe wa Lukiiko, Omukungu Michael Kawooya Mwebe Ssenkulu wa Radio CBS ,Omukungu Robert Kasozi akulira ebyemirimu ku CBS,Issa Ssekito okuva mu kibiina ekigatta abasuubuzi mu ggwanga ki KACITA ,Mawanda Robert omukugu mu byendiisa okuva mu Makerere University,DR Ssonko Jackson ne Muky. Suzan Muwanga .
Bisakiddwa: Nakato Denis












