Empaka z’emizannyo ez’ebika bya Baganda ez’omwaka guno 2026 zitandise mu kisaawe e Wankulukuku.
Empaka eziggulawo mulimu omupiira ogw’ebigere, n’okubaka.
Empaka ezisooseewo z’ezokubaka mu nkola eya Gala.
Kussaawa 9 ez’olweggulo e Mamba Namakaka egenda kwambalagana ne Ngeye mu mupiira ogw’ebigere, olwo ku ssaawa 1 eyakawungezi ku bitaala, Omusu gugenda kuttunka ne Nte.
Okuyingira mu kisaawe e Wankukuku kwa shs 5000/= ate abato bakuyingirira bwerere nga bulijjo.
Bazzukuku ba Nsamba abe Ngabi be bannantameggwa b’empaka ezasembayo ez’omupiira ogw’ebigere, ate bazukulu ba Mbazira abe Nnyonyi Nyange be bannantameggwa b’empaka ez’okubaka era omwaka ogwayita 2025.










