Government ya Uganda ekutte abagwira 231 nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kubeera mu Uganda.
Abakwatiddwa kuliko bannansi ba Ethiopia, Myanmar, Cambodia, Sri Lanka, Malaysia, Nigeria, Pakistan, India, Ghana, ne Bangladesh.
Mundeyi Simon Peterayogerera ministry ekola ku nsonga zoomunda mu ggwanga agambye nti abagwira bano babakwatidde mu bikwekweto ebikoleddwa mu nnaku 2 eziyise.
Mundeyi agambye nti abakwate 62 nga bannansi ba Nigeria bakwatiddwa mu district ye Adjumani nga balina ekkanisa gyebaddukanya mu bumenyi bw’amateeka.
Abalala 169 nga kuliko abakyala 36 bakwatiddwa mu Kampala mu bitundu bye Ntinda ne Bukoto.
Mundeyi agamba nti bano babadde baliko ebiriiro by’emmere byebakoleramu mu bukyamu, abalala nga balina n’ekizimbe mu Bukoto kyebakolerako emirimu emirala ejitakirizibwa mu mateeka ga Uganda naddala egya Zaala.
Agambye nti bano baasangiddwa nga tebalina wadde ebiwandiiko ebibakkiriza okukolera mu Uganda wadde endagamuntu eziboogerako, era nti bagenda kusimbibwa mu mbuga zamateeka bennyonyoleko.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











