Olukiiko oluteekateeka empaka z’emizannyo ez’ebika by’Abaganda lukakasizza emizannyo emipya egyongeddwa mu mpaka zino omwaka guno 2026.
Ebika bibadde bivuganya mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka gyokka.
Kati ku mulundi guno ebika bigenda kuvuganya mu mizannyo okuli Omweso, ekigwo, Chess, Badminton, Scrabble, okuwuga, omupiira ogw’okubusaawe obutono, okusika omugwa ne Ludo.
Empaka z’ebika bya Baganda ez’omwaka guno zigenda kutandika nga 02 May, mu kisaawe e Wankulukuku.
Mu kiseera kino omukolo ogw’okutongoza empaka zino gugenda mu maaso wano e Bulange, omuli n’okukwata obululu obw’ebibinja obw’oluzannya olusooka.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe










