Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Abbas Byakagaba akyusizza abasirikale 433 okuva mu bifo n’ebitundu ebimu okudda mu birala.
Ekyukakyuka zino IGP Byakagaba azikoze mu bitongole okuli; ekitwala eby’emizannyo, ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abasirikale, ekizikiriza omuliro, ekikwasiza empisa saako eky’ebyetambula n’ebirala.
Abamu ku basirikale abannene abakyusiddwa kuliko Senior Commissioner wa police Godfrey Chombe abadde talina watufu wakolera, ateereddwa mu wofiisi ya Ssaabaduumizi, Commissioner Alison Agaba naye abadde talina waali watongole asindikidde ku kitongole kya police y’ensi yonna ekya Interpol.
Mu balala ye Commissioner William Okalany asindikiddwa mu kitongole ky’eddembe ly’obuntu n’amateeka ekya police, sso nga commissioner Richard Arumadri abadde mu ky’amateeka atekeddwa mu kitongole kya bya nsimbi.
Abalala ye Assistant Commissioner wa Police Richard Mugwisagye kati ye mumyuka w’akulira akakiiko ka police akakwasiza empisa aka Professional Standards Unit.
Assistant Superintendent wa Police Ivan Nduhura eyakulirako ebikwekweto ku police ya CPS mu Kampala, asindikiddwa mu West Nile ng’avunanyizibwa ku mateeka okwetolola police mu bitundu ebyo.
Commissioner wa Police Enock Baine abadde ku kitebe e Naggulu kati ye Ssenkulu avunanyizibwa ku nteekateeka ya Duty Free mu Police n’amaduuka ga Supermarket.
Grace Ewiku alonddeddwa okulira ebyobulimi mu police ya Uganda.
Omwogezi wa police mu ggwanga Kituuma Rusooke ekyukakyuka zino agambye zitandikiddewo okuteekebwa mu nkola, nasaba abateereddwa mu bifo ebyenjawulo okuweereza obulungi bakuume ekitiibwa kya police.#












