Okuwulira omusango ogw’obutemu oguvunaanibwa omusajja Christopher Okello Onyumu agambibwa okutemula abaana 4 ku ssomero lya Ggaba Early Childhood Development center e Ggaba mu Kampala, kukomekkerezeddwa mu ngeri ya kusoberwa, olw’avunaanibwa emisango okutegeeza nga bwawulira obulwadde obumuluma wabula nti tasobola kunnyonyola ngeri gyebumulumamu.
Kooti eno etudde ku kisaawe kya Ggaba Community Ground, kumpi n’ekifo weyaddiza emisango.
Kooti ebadde yakatandika eddakiika ntono, Christopher Okello Onyum nategeeza omulamuzi nti abadde teyeewulira bulungi, awo Omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha kwekuyimirizaamu kooti okumala eddakiika 30.
Bino bitabudde abantu abazze mu bungi okugoberera omusango mu kooti, nga bagamba nti Okello omusango agufudde gwakuzannyiramu.
Ate ekisiinze okutabula abantu ye Okello okutulika naseka ng’ali mu kaguli ka kooti.
Oluvanyuma lw’eddakiika 30 kooti ezzeemu okutuula, wabula era Okello Onyemu azzeemu nategeeza nti abadde tawulira bulungi, omulamuzi kwekumubuuza ennyonyole ekimuluma, naategeeza nti obulwadde obumuluma buzibu bwakunnyonyola.
Omulamuzi wano wabuulizza omu ku bakuuma abasibe nga ye Hiira Emmanuel, oba ng’omusibe bamuleese mu kooti nga mulwadde.
Hiira asabye omulamuzi abuuze abatwala Luzira Upper prison, bebamanyi ebifa ku bulamu bw’omusibe.
Embeera eno ewalirizza Omulamuzi okwongerayo okuwulira omusango guno olunaku olw’ekya nga 16 April,2026, era naalagira abasawo b’ekkomera okwekebejja Okello baleetere kooti alipoota.
Abantu 2 bawadde obujulizi ku byaliwo:
Ebyo nga tebinabaawo oludda oluwaabi lusoose kwanjula abajulizi ababadde baleeteddwa okuli Annet Odong omukwanaganya w’ekifo ekyo ewattirwa abaana abadde yakakikolera okumala emyaka 15, awamu ne ddereeva Juma Hashimu eyayazika Okello emmotoka mweyali ataambulira.
Hashimu agambye nti Okello yamutuukirira ku nkomerero ya March,2026 ng’ayagala amwazike emmotoka, era nga yali wakujikozesa okumala ennaku 2 olwa nga 01 ne 02 April,2026.
Annyonyodde nti yamusasula shs emitwalo 388,000/= ng’akozesa mobile money, era emmotoka naagimutwalira ewaka gyeyamulagirira nti gyasula e Kyanja.
Hamishu agambye nti ng’ennaku z’omwezi 2 April, Okello yoomu yamukubira namutegeeza nti emmotoka yali efunye ekizibu era nti yali wakugisaanga okumpi n’essomero eryo e Bbunga naye kwekumuweereza makanika gyeyamusanga naagitereeza.
Annet Odong naye annyonyodde ebyaliwo mu ssomero, nti Phibi Namutebi omu kubaali balabirira abaana yeyamwanjulira Chrstopher Okello Onyum eyamutegeeza nga bwalina omwana ataliiko mwasirizi gweyali ayagala okuyamba era naasasula ensimbi emitwalo 190,000 naafuluma naagenda.
Odong agamba nti yali akyali munda mu wofiisi, kwekulengera Okello ng’akutamye ewali omwana ng’alinga gw’atulugunya, naayanguwa okufuluma amutuukeko,agenda okubanga amutuukako kwekulaba ng’alina ekiso nga waliwo abaana abawera baatemudde mu bwangu obwekitalo nti kubanga yali yakafuluma.
Odong yakuba enduulu eyasomboola abadduukirize abaasobola okukwata Christopher Okello Onyum.
Wabula Onyum olwasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi emisango gyonna ena egy’okutta abaana naagyegaana.
Abaana abattibwa ye Gideon Eteku, Keisha Agenowroth Otim, Ignitious Seruyange ne Ryan Odeke nga 02 April 2026.
Abajulizi abaleeteddwa mu kooti, omuluwaabi wa Government Jonathan Muwaganya asabye omulamuzi agaane bannamawulire okubakwata ebifaananyi, era Omulamuzi nakkiriza.
Emmotoka ereese omusibe etomedde munnamawulire:
Bibadde biri bityo, ate emmotoka y’ekkomera ereese No. UU 00067T ereese omusibe mu kooti, ebiziyiza bigaanye okusiba nedda emabega, gyesaanze munnamawulire neemulinnya.
Munnamawulire akooneddwa emmotoka ye Ronald Mulwana akolera mu mitimbagano.
Abasirikale bangi ne bannamawulire abalala basimattukidde watono.#












