Omuyimbi Irene Ntale ne bba Vincent Kalibbala ne bakadde baabwe ku njuyi zombi bakyalidde ku Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mmengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ababiri bano abeebazizza olw’okusalawo okutandika obufumbo obutongole.
Katikkiro agambye nti abantu abamanyifu bye bakola bifuuka eky’okulabirako eri abalala naddala ababagoberera.
Katikkiro era abakuutidde buli omu okussa mu munne ekitiibwa, buli omu okuwagira munne mu mirimu gy’akola, abakubirizza okufaayo ku bulamu bwabwe n’okunyweza omukwano, waleme kubaawo ababuzaabuza nti obufumbo bizibu, oba nti bwamukisa.#













