Okusaba kw’omwaka guno kukulembeddwamu enzikiriza y’abakatuliki era omusumba w’essaza lya Kiyinda Mityana, era ssentebe wolukiiko lw’abepisikoopi mu ekereziya katulika, Omusumba Dr. Anthony Zziwa, yakulembeddemu okubuulira.
Ekkanisa ya Uganda ekulembeddwamu ssabalabirizi Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, ekeresiya y’aba Orhtodox ekulembeddwamu omusumba Leronymos Muzeeyi.
Omusumba w’essaza ekkulu erya Kampala mu kereziya Katulika, Paul Ssimogerere yakulembeddemu abavudde ku lutikko e Lubaga, n’omulabirizi Moses Banja owe Namirembe ne bannaddiini bangi beetabye mu kusaba kuno.
Bwabadde akulembeddemu okubuulira, Dr Anthony Zziwa avumiridde ebikolwa ebyokutulugunya abantu, navumirira n’ettemu eryakoleddwa ku baana abato abatiddwa mu bitundu bye Ggaba, omutemu bweyayingiridde essomero naabasanjaga.
Dr. Zziwa agamba nti kyenyamiza okulaba ng’omutemu yasazeewo okutirimbula obulamu bw’abaana abato abatalina musango gwonna, era naasaba abakiriza okusabira eggwanga ebikolwa nga bino ababikola beekube mu kifuba.
Mu kusooka Ssabasumba w’aba Orthodox, Leronymos Muzeeyi, yaasabidde emirembe mu ggwanga nabantu okukozesa olunaku lwa paasika okwekubamu kifuba ku byebakola.
Mungeri yeemu n’omulabirizi we Namirembe Bishop Moses Banja nga yakulembeddemu abasimbudde ku lutikko ya St Paul e Namirembe, okutambuza ekkubo ly’omusaalaba, avumiridde ebikolwa ebyokutulugunya abantu abatalina musango.
Omulabirizi Banja abadde n’ekibinja kyabakulisitaayo omubadde abaana baamasomero, abasawo, abaliko obulemu, abawereza ne bannabyabufuzi abakulembeddwamu omubaka omulonde owe Nansana Zambaali Bulasio Mukasa, ne meeya we Lubaga Mberaze Zaake Mawula.
Basiimbudde mu bimuli bya lutikko e Namirembe, nebakkirira ku luguudo Balintuma nebayimirirako ku ssomero lyabaliko obulemu erya Kampala School of the Handicapped eriri wansi woobulabirizi bwe Namirembe.
Beyongeddeyo ku ddwaliro e Mengo, mu kifo webalabirirrra abaana abatalina mwasirizi erya Sanyu Babies Home, neboolekera ku old Kampala nga batambuza bigere era nga beetisse emisalaba egyenjawulo.
Omulabirizi Banja wano wonna abadde akulemberamu okusabira eggwanga ku bigenda mu maaso naabawereza abalala.#










