Parliament eyisizza etteeka erya the Forensics And Scientific Analytical Services Bill,2025 eriwadde obuyinza n’obuvunaanyizibwa, ekkebejjero lya government eryebizibiti n’endagaluse erya directorate of Government Analytical laboratory okukwanaganya, okwekebejja n’okuwa eggwanga amawulire agakwata ku bintu eby’obutwa erimanyiddwanga the National Poison Information Centre.
Etteeka lino era liwadde obuyinza ekitongole kino ki Government Analytical laboratory obuyinza okutereka kalonda yenna akwata ku ndagaluse mu ggwanga, era omuntu yenna eyetaaga endagaluse oba kalonda akwata ku nsonga yonna ekwata ku ndaga luse wakusasulangayo omutemwa gw’ensimbi.
Ebitongole by’eggwanga ebinoonyereza ku buzzi bw’emisango ebyetaaga endagaluse zino mu kunoonyereza kwabyo bbyo ssi byakusasulanga.
Mu tteeka lino, omuntu eyetaaga okwekebejja endagaluse z’omuntu oba ez’ebintu okuli ebisolo n’ebirala, wakusookanga kufuna lukusa okuva eri omuntu eyetaaga okumuggyako endagaluse, okuva mu bazadde b’omwana bombi, songa bwekiba kisolo olukusa lulina kufunibwa okuva eri nnanyini kyo.
Mu tteeka lino, government yakuteekawo etterekero lyakalonda akwata ku bazzi b’emisango, nga nabo endagaluse zaabwe zakubeera mu tterekero lino okuyambako government okuyita mu bitongole byayo ebinoonyereza ku buzzi bw’emisango okwanguyirwako mu kunoonyereza.
Etteka lino era litaddewo ebibonerezo eri abantu abaddukanya labarotary ezekebejja endaga luse mu bumenyi bwamateeka, bakusibwa emyaka 3 oba okutanzibwa obukadde bwa shs10 oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
Ekitongole ekikozesa obubi endagaluse zabalala kyakutanzibwa ensimbi obukadde bwa shs 20.
Abantu abaggya endagaluse ku bantu abalala okuli abaana, ebisolo n’ebirala nga tebafunye lukusa okuva eri abantu abo, abazadde babaana, oba bannanyini bisolo, abazibaggyeko bakutanzibwa obukadde bwa shs 30 oba okusibwa mu nkomyo emyaka 5 oba ebibonerezo byombi.
Etteka lino parliament egenda kulisindiika eri omukulembeze weggwanga okulisaako omukono.#












