Emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II egy’Emyaka 71 gya bukadde 25 giguliddwa abantu ba Kabaka, omubadde bannabyanjigiriza ne bannamakolero.
Abaguze emijoozi kubaddeko Amasomero ga Nnaalya secondary schools baguze emijoozi gya bukadde emijoozi gya Bukadde bwa shs 5, Uganda Bbaati gya bukadde 10, naaba East African Medical Vitals abakulembeddwaamu Brian Kavuyane nabo gya bukadde 10.
Bwabadde akwasa abayizi wamu n’Abaddukanya Amasomero ga Nnaalya secondary schools emijoozi gyabwe mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza government olw’okulowooza ku kulinnyisa emisaala gy’Abasomesa naddala aba Arts, kuba nabo bakola kinene okubezaawo banaabwe aba science.
Katikkiro asabye abayizi abalina ebiruubirirwa by’Okufuuka Abakulembeze okwetegeka ekimala n’Okulowooza ennyo ku kugonjoola ebisomooza , mu kifo ky’Okukaaba Obukaabi.
Minister w’Ebyenjigiriza ,Ebyobulamu era nga yavunaanyizibwa ku yafeesi ya Nnaabagereka Owek Chotilda Nakate Kikomeko,asabye Abayizi okufuba okwekuumira mu Masomero bwewabaawo Omukisa , ate bekuume n’Endwadde babe balamu.
Walusimbi Dankan Mathew nga yaakulembeddemu Bayizi banne okuva ku Naalya Secondary school, ategeezezza nti bamaze ebbanga ddene nga baagala okufuna okuluηamizibwa okutuufu ku nsonga ssemasonga ez’Obwakabaka, neyebaza Kamalabyonna wa Buganda olw’okubasisinkana era nabaluηηamya.
George Arodi ssenkulu wa Uganda Bbaati nga bano baguze emijoozi gya Bukadde 10, agambye nti tebagenda kukoowa kuddiza Bwakabaka ku byebalina, kuba nabwo bubabeereddewo.
Brian Kavuya ku lwa East African Medical Vitals agambye nti okukolagana n’Obwakabaka mu kutumbula ebyobulamu nga bakwasizaako Ssaabasajja Kabaka kyamuwendo gyebali, kuba baba batambulira wansi w’Omulamwa gw’Enkulaakulana eya nnamaddala.
Bisakiddwa: Kato Denis












