Government okuyita mu ministry evunanyizibwa ku mafuta, n’ekitongole ekya Uganda National Oil Company, (UNOC), ekakasizza banna Uganda nti eggwanga siryakukosebwa bbula ly’amasannyalaze, wadde nga waliwo okusomoozebwa kw’entalo ezikosezza ensi yonna.
Olutalo wakati wa Iran, America ne Israel, lukosezza eby’obusuubuzi bw’amafuta okwetoloola ensi yonna, era nga kino kiva ku maggye ga Iran obutakiriza meeri yonna kuyita mu kagolomolo ke Hormuz.
Akagolomolo ke Hormuz lyerimu ku makubo agasinga okutambuza emeeri eziriko eby’amaguzi okuva e Buwalabu mu mawanga agali mu Middle East, okwolekera ebitundu byensi endala omuli ne Africa era kiviiriddeko amafuta okukendeera mu katele n’ebitundu 20%.
So ng’olutalo luno werujjidde nga n’olwa Russia ne Ukraine lukyagenda mu maaso, era nga zonna zikosezza enkola z’emirimu.
Embeera eno eviiriddeko amafuta okwongera okulinnya ebisale okwetoloola ensi yonna, era nga ne mu Uganda wetwogerera nga liita yamafuta naddala petuloli eri wakati wa 5200 ku 5400 okusinziira ekitundu woogaguze, ate Diesel eri wakati 4500 ku 5000.
Wabula abakulu mu ministry y’ebyamafuta n’ekitongole kya Uganda National Oil Company, (UNOC), bagamba nti Uganda ekyali yaddeyaddeko mu kutereka amafuta, era nti agaliwo gasobola okutambuza eggwanga okumalako omwezi gwa April 2026.
Mu kiwandiiko ekifulumizddwa Dr. Patricia Litho, ayogerera ministry y’amasanyalaze n’mafuta, ne Tony Otoa, ayogerera UNOC, kiraze nti mu materekero ga Uganda mukyalimu liita za Petro obukadde 81, nga zisobola okutambuza eggwanga okumala ennaku 22.
Diesel aliwo aweza obukadde 80 amalako ennaku 23, sso nga amafuta age ttaala gawera obukadde 18 nekitundu gamalako ennaku 30.
Government egamba nti esuubirayo amafuta amalala okuleetebwa mu ggwanga ku ntandikwa y’omwezi ogujja ogwa April, nga gaweza liita za Petro obukadde 195, era zisobola okutambuza eggwanga okumala ennaku 52.
Diesel obukadde 55 nazo zisuubirwa okutuuka mu ggwanga, nga zisobola okutambuza eggwanga okumala ennaku 44.
Amafuta g’ettaala agayitibwa Jet A-1 agasuubirwa gaweza obungi bwa Bukadde bwa liita 24 eziyinza okutambuza eggwanga okumala ennaku 39.
Ekiwandiiko kiraze nti government amafuta agamu egayisizza ku mwalo e Mombasa, e Tanga, Mtwala mu Tanzania, Dar-es-salaam newalala.#












