Akakiiko k’ebyokulonda kasabye kooti enkulu e Masaka egobe okusaba okwatwalibwayo Joanita Nalule ng’awakanya obuwanguzi bw’omubaka omukyala owa district ye Masaka Joan Namutaawe.
Joan Namutaawe owa NUP yalangirirwa ku bululu 16,064 ate Joanita Nalule owa NRM yafuna obululu 15,559.
Bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda aba Basiime & Co Advocates, bategeezezza nti Namutaawe yalangirirwa mu mazima n’obwenkanya mu kalulu akaakubwa nga 15 January,2026.
Akakiiko k’ebyokulonda era kategeezezza nti obululu obwakubwa mu kitundu kye Kijonjo Church of Uganda ne Buyaga Primary School wadde nga tebwagattibwako ku bululu obwalangirirwa olw’okuba nga bwatuuka kikeerezi, nti naye bwali tebulina kyebukyusa ku byava mu kulonda.
Eyakuliramu eby’okulonda e Masaka, Mable Kwarikunda, asoose kukuba kirayiro nategeeza nti byonna byeyalangirira byali byamazima era nga bigoberera amateeka, nga kwotadde n’okuba nga bonna aabaali besimbyewo baaliwo awamu n’abebyokwerinda.
Akakiiko k’ebyokulonda kesamudde n’ebigambibwa nti ketaba mu kubbira Joan Namutaawe, era nga Nalule omusango gweyatwala mu kooti avunaana akakiiko k’ebyokulonda ne Joan Namutaawe okumutwalako obuwanguzi bwe.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












