
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula abasuubuzi mu Kataleke ake Katwe mu Kampala , akaakutte Omuliro ebintu by’abantu bingi nebitokomoka.
Omuliro gwakutte akatale kano mu kiro ekyakeesezza ku monday nga 16 March,2026.
Ssaabasajja Kabaka mu ngeri ey’ebyewuunyo abaguddeko bugwi, ekireetedde abasuubuzi abagyiriddwako ebintu byabwe okubugaana essanyu, nebamutendereza okubaagala ekyenkanidde awo.

Amyuka ssenkulu w’Ekitongole ekirabirira Obutale bwa Ssemunywa ki Rexba, Brian Mutebi Mubiru, ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka anyolerwa wamu n’Abantu be, era naagumya ababadde baweddemu essuubi okuddamu amaanyi bayiiye bakole.

Bbo abantu ba Beene abajjiiriddwa emmaali yabwe mu muliro guno bagambye nti ennaku ebaweddeko oluvannyuma lw’okulaba ku Ssabasajja Kabaka, era bagambye nti bazzeemu okufuna essuubi era betegefu okuddamu okulwana okuzzaawo business zabwe n’obulamu bwabwe bawulira buzeemu okutereera.
Abasuubuzi bateebereza nti gwavudde ku masannyalaze agaabadde gavuddeko, ate olwakomyewo omuliro negukwata.
Bisakiddwa:Kato Denis ne Lukenge Sharif










