Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Kitwekyanjovu mu Town Council ye Kyazanga mu district ye Lwengo ku luguundo oluva eMasaka okudda e Lyantonde.
Abafudde babadde batambulira ku Pikipiki No. UDT 812X, nebatomerwa emmotoka ya Lukululana No. ZH 1871 ebadde eva Masaka ng’edda Lyantonde.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Masaka Affadde Twaha Kasirye agambye nti abafudde kuliko Magembe Rogers abadde avunga Pikipiki, abalala kuliko Nandawula Scovia wa mwaka 54, Amon Banama ne Talemwa Gyaviira.
Emirambo gyabafudde gutwaliddwa mu ggwanika rye ddwaliiro lya Kyazanga H C V.
Abaamu ku batuuze aberabiddeko ng’akabejje kakagwawo basabye ministry ye byentambula okubateera obugulumo mu kitundu ekyo.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane











