Police y’e Matugga mu district ye Wakiso etandise omuyiggo gwÓmusajja agambibwa nti yakkakkanye ku muvubuka gweyagwiikirizza ne Muwalawe naamukuba naamutta.
Ettemu lino lyabaddewo ku lunaku lwÁbaagalana nga 14.2.2026, musajja mukulu ategeerekeseeko erya Herbert lyokka bweyasanze muwalawe owÉmyaka 14 nÓmuvubuka Bukenya Martin, nga bonna bayizi ku ssomero lya siniya e Matugga.
Bukenya Martin abadde mutuuze ku kyalo Kirinnyabigo Kawanda mu gombolola ye Nabweeru yasangiddwa mu Maka omuwala gyazaalibwa, ku kyalo Mabanda ekiri mu Division ye Gombe mu Nansana, era wano Herbert weyatandikidde okumukuba.
Kigambibwa nti oluvannyuma lwÓkukuba Bukenya, Taata w’omuwala yadduse awaka nábomumakaage , bonna tebamanyiddwaako mayitire.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emirirwano Rachael Kawala, agambye nti Herbert wakuyiggibwa yonna gye yeekukumye, era wakuvunaanibwa mu mbuga zÁmateeka.
Bisakiddwa: Kato Denis












