Katikkiro akomekkerezza obugenyi bwabaddeko mu Ssaza Buvuma, gy’amaze ennaku 2 ng’alambula n’okukubiriza abaayo okwenyigira mu bulimi n’okusitula embeera zabwe mu by’obulamu n’okubeera n’amaka agasaanidde.
Mu ssaza Buvuma Katikkiro gyatongolezza enteekateeka ya “Situla Omutindo” erimu emiramwa 6 egisuubirwa nti gya kukulaakulanya abantu ba Buganda.
Emiramwa gino kuliko; Eby’obulimi, Obusuubuzi, Ebyobulamu, Ebyenjigiriza, Embeera z’Amaka, n’Okusitula Ebitone.
Sigula Omutindo esimbuliziddwa mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba.
“Oluvannyuma lw’emyaka 10 nga tubunyisa kaweefube wa Mmwanyi Terimba, abantu bajjumbidde era tukkiriza nti bazuukuse. Tugenda kwongera okutalaaga Buganda okunnyikiza emiramwa gino, buli muntu mu Buganda abeeko omulamwa gwe yekwatako agukole n’obukugu era ku mutindo ogwawaggulu” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro era alabudde abavubi ,obutalagajjalira bulamu bwabwe wabula beewale byonna ebiyinza okubutabangula omuli ettamiiro, obutaba na kabuyonjo, n’Obutamanya.

Alambudde eddwaliro lya Buvuma health IV okulaba abantu gye bajjanjabirwa, asanzeeyo n’omukyala abadde yaakazaala, omwana azaaliddwa abadde muwala naamutuuma erinnya lya Nansamba olw’okuba kitaawe w’omwana yeddira Ngabi.
Minister w’eby’Obulamu Owek Nakate Chotildah Kikomeko asabye abantu ba Kabaka okwekebeza endwadde nga bukyali, n’Okukola buli kikuuma Emibiri nga miramu.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Buvuma Mbuubi Michael Mboowa asabye nti Buvuma esaanye eyongerwe ku bifo awajjanjabirwa.
Akulira Eddwaliro lya Buvuma health center IV Dr Remmy Ndyanabo Kabyanga agambye nti Omuwendo gw’abaana abazaalibwa n’akawuka ka mukenenya e Buvuma guli waggulu, nti nga kivudde ku Bakyala obutaagala kwekebeza mukenenya nga bali mbuto.

Omukungu kitongole ekirwanyisa mukenenya ki Uganda AIDs Commission Dr. Steven Watiti, alabudde abakyala abagaana okugenda okufuna obujjanjabi ku ddwaliro nga bekwaasa Obusongasonga, nti balowooze nnyo ku bulamu bwabwe, n’obw’abaana bebazaala nebabaleka ku nsi nga baabawereba akawuka.
Bisakiddwa: Kato Denis













