Obwakabaka bwa Buganda butenderezza Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe Ngobe eyabuze, nti abadde muntumulamu, mwetowaze, abadde muwabuzi ku nsonga ez’enjawulo, era ng’akulembedde olulyo olulangira okumala emyaka 14.
Yabuze nga 02 February, 2026.
Wategekeddwawo ekitambiro kya Missa okumusabira, kibadde ku lutikko e Lubaga nga kikulembeddwamu Fr. Ssebayigga Emmanuel.
Fr.Ssebayigga atenderezza Ssaabalangira Omubuze olw’omwoyo gwa Buganda ogutafa gw’abadde nagwo, bwatyo naasaba abasigaddewo okumuyigirako nga kwotadde n’okumusabira essaala omukama amusonyiwe ebyamusobako.
Ku lwa gavumenti ya Buganda, Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase atenderezza omubuze olw’omukulo gwalese ku nsi, nga guno gweyolekera mu buweereza obwenjawulo bwazze akola ku mitendera egyenjawulo, naddala ng’akulembera olulyo olulangira nga Ssaabalangira.
Ku lwa government eyawakati minister omubeezi ow’ebyamawulire n’okuluηamya eggwanga,Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo ayogedde ku mubuze nga omuntu abadde akolaganika naye, era nga mwetowaze.
Omumyuka wa Ssaabalangira Kateregga Fred Sandy agambye nti okufa kwa Ssaabalangira kulese Eddibu ddene mu lulyo Olulangira.
Ku Lw’ennyumba ya Ssaabalangira, Ggolooba Kayemba Martin yeebazizza bonna abalabiridde Ssaabalangira okutuusa lwavudde mu nsi eno.
Atenderezza omubuze olwokubalambika obulungi ekibasobozesezza okufuuka abantu abomugaso eri eggwanga.













