Kooti y’omulamuzi etuula e Gombe mu district ye Butambala ezzeemu okusindika ku alimanda Omubaka wa parliament owa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi, eyaggulwaako emisango okuli ogw’okulya munsiye olukwe wamu n’ogwobutujju.
Mungeri yeemu, kooti egasse emisango gyejimu ku bavubuka 24 abagambibwa okuba abawagizi b’omubaka Oyo Muwanga Kivumbi abaasooka okukwatibwa okuva mu kitundu ekye Butambala, nga basooka kuvunaanibwa musango gwakuteekawo bujagalalo mu kitundu ku lunaku lwebaalonderako president n’ababaka ba parliament nga 15 January,2026.
Ebyokwerinda bibadde byamaanyi ku kooti eyo.
Banna mateeka ba Muwanga Kivumbi bakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona, Ssalongo Elias Lukwago, Samuel Muyizzi, Asuman Basaalirwa n’abalala.
Bannamateeka bano bakubye ebituli mu misango egyateereddwa ku mubaka Muwanga Kivumbi nga bagamba nti okuva mubaka oyo akwatibwa, takolanga sitaatimenti yonna ku police, nti era okuva lweyakwatibwa okuva mu makaage tategeezebwanga ku musango gweyazza.
Ekirala, bannamateeka abo beewunyizza okulaba nga omuwaabi wa government talina kunoonyereza kwonna kweyali akoze mu maka Muwanga Kivumbi gyasibuka e Gombe wadde nga geekuusa ku ttemu eryakolebwa abebyokwerinda omwafiira abantu 7 n’abalala.nebalumizibwa.
Bannamateeka abo bagezezzaako okumatiza omulamuzi wa kooti eyo Ssejjemba Deogratious awe omuntu waabwe akakalu ka kooti awoze ng’ava waka, kyokka Omuwaabi wa government Rechael Bikhole nakiwakanya.
Bikhole asabye omulamuzi ayongere okuwa oludda oluwaabi obudde lwongere okuleeta obujulizi, Omulamuzi Ssejjemba kyakkirizza.
Omulamuzi alagidde nti Muwanga Kivumbi ne azzibweeyo mu kkomera lye Kitarya okutuusa nga 17 February,2026.
Wabula bbo Abavubuka 24 nabo omulamuzi agaanye okubayimbula ku kakalu ka kooti, oluvannyuma lwokumutegeeza nti bayizi b’amasomero n’agamba nti talina lukusa lubayimbula okujjako kooti enkulu.
Ssalongo Elias Lukwaago agambye nti bbo nga bannamateeka tebamatidde na kisaliddwawo mulamuzi.#













