Ssaabalangira wa Buganda Godfrey Musanje Kikulwe aseeredde ng’obudde busaasaana nga 03 February,2026 mu ddwaaliro erimu e Kamwokya mu Kampala.
Ab’olukiiko lwa Ssaabalangira wa Buganda nga bakulembeddwamu Omulangira Kateregga Fredrick Sunday bategeezezza Obuganda nti bataddewo olukiiko olugenda okukuliramu enteekateeka ez’okutereka Ssaabalangira, mu kugoberera obuwangwa n’ennono.
Minisita w’amawulire, avunanyizibwa ku kukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek Israel Kazibwe Kitooke agambye nti Ssaabalangira abadde amaze ebbanga nga mulwadde, era nga yalongoosebwako ekiseera ekiyise, wabula obulwadde nebuddamu okutabuka.
Gutusiinze nnyo ayi Ssaabasajja Kabaka twakuumye bubi !.













