Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abazadde okuyambako Abaana okukula nga basobola okwekkiririzaamu ,nÓkubeera abavumu mu kulwanirira ebintu byebamanyi nti bituufu.
Abadde asisinkanye Nalulungi wa Uganda Omuto (Little Miss Uganda) Serena Abigail Nankabirwa ng’awerekeddwako bakadde be, bamusanze mu wofiisi ye mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti okweetya nÓkwenyooma okususse kufiirizza abantu bangi Obuwanguzi obwenjawulo.
Katikkiro asabye abazadde okuwagira Abaana baabwe batumbule ebitone byebalina.
Mungeri eyenjawulo naasaba Abantu Okukyuusa endowooza zaabwe eri Obuwangwa nÉnnono, nga kino kirina kutandika na nkuza yÁbaana ennuηamu.

Serena Abigail Nankabirwa ategeezezza nti mwetegefu okukwasizaako baana banne naddala Abawala okulaba nga bafuna ebikozesebwa mu mbeera zaabwe ezeekikyala, nÓkutumbula Obuwangwa nÉnnono.
Bisakiddwa: Kato Denis











