Ssabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere alabudde abeenyigira mu kutyoboola eddembe ly’Obuntu ate nga bebandikulembeddemu okulikuuma, naasaba amateeka gabakangavvule awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Ssaabasumba abadde akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa y’Amazaalibwa ga Yezu Kristu ku Lutikko e Lubaga.
Agambye nti kikyaamu okulaba ng’ekiseera ky’Ebyobufuzi n’Okunoonya Obululu bijjuddemu ekitulugunya bantu, ate nga bikolebwa abandibadde abakuuma Ddembe.
Ssabasumba agambye nti mu kiseera nga eggwanga lyetegekera Okulonda kwa bonna okunabaawo nga 15.Jan.2026 tewasaanye kubaawo kintu kyonna kiteeka bantu mu mbeera ya bunkenke, nga bwetoloolera ku butali bwenkanya.
Mungeri eyenjawulo Ssaabasumba era asabye abantu ba Katonda obutakozesa lunaku lwa Chrismas okutamiirukuka n’Okuleetawo Obutabanguko mu Maka, olwo ekitiibwa kyalwo kiveeyo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Banna Uganda bonna okwefumiitiriza ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obw’Amazaalibwa ga Yezu Kristu, mweyasabidde abakwatibwako bonna okweddako baleme kuleetawo butabanguko mu ng’eggwanga ligenda mu kulonda kwa bonna.
Katikkiro ku lulwe akubirizza Banna Uganda okubukeereza nkokola nga 15.Jan.2026 balonde abakulembeze bebeeyagalidde, kyokka naabasaba okukuuma emirembe.
Agambye nti wadde waliwo empulunguse ezigezaako okuleetawo etali ntuufu mu kunoonya akalulu, naye tezisaanye kubalemesa kwerondera bakulembeze babwe.
Minister omubeezi owebyenjigiriza ebya waggulu Owek JC Muyingo nga yakiikiridde government eya wakati, asabye abazadde Okwongera amaanyi mu kulungamya Abaana abato ,baleme kweesiba ku mitimbagano egibonoona.
Minister Muyingo era asabye ebigambo ebikankana n’Okusiga Obukyaayi mu Banna Uganda birowozebweeko nga Okulonda tekunnatuukawo, kuba kwalunaku lumu okutasaanye kubsswula.
OkusabakuLutikko e Namirembe;
Ku lutikko e Namirembe, okusaba kukulembeddwamu omulabirizi Moses Banja, era okusaba kuno kwetabiddwamu abakungu okuva e Mengo nga bakulembeddwamu Nnaabagereka Sylivia Nagginda n’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda olukulu Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ne mu gavumenti eyawakati nga bakulembeddwamu owek Nabbosa Ssebuggwawo.
OkusabakuMiracleCentreCathedral
Omusumba w’ekkanisa y’Abalokole eya Miracle Centre Cathedral e Rubaga, Robert Kayanja, avumiridde ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu naddala mu kiseera kino ekya kampeni, era n’asaba ebitongole by’ebyokwerinda okussa ekitiibwa mu Banna-Uganda.
Omusumba Kayanja agambye nti ekikolwa eky’okukuba abantu si kya bugunjufu era kityoboola eddembe ly’obuntu.
Omusumba Kayanja era awadde abagoberezi ba Kristo amagezi okwewala omuze gw’okusabiriza era n’abakubiriza okutereka n’okusiga ensimbi mu bintu eby’enjawulo ebinnaabakulaakulanya.
Okusaba ku Orthodox Church e Namungoona
Ssabasumba w’aba Orthodx mu ggwanga Metropolitan Yeronmus Muzeeyi alabudde banna byabufuzi ku mitendera gyonna mu ggwanga okukomya okubuyiza enjiri esiga obukyaayi n’okutya mu bantu nadala mu kaseera kano ak’okunonya akalulu
Ssabasumba bino abyogeredde mu kitambiro kya missa eky’okukuza amazalibwa ga Yesu Kulisitu ku eklesia e Namungoona .
Ssabasumba mu bubaka bwe obumusomedwa Ddiini wa Lutikko ye Namungoona Rev Dr Nicholus Bayigo agambye nti banna byabufuzi bajukire nti Uganda yabuli muntu era buli muntu alina okuyisibwa kyenkannyi