President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni azeemu okulabula abagala okutabangula emirembe mu ggwanga nti bagenda kubakwasa mukono gwa kyuma
Museveni abadde mu bitundu bye Kasese g’anoonya akalulu okudda ku ntebe y’eggwanga mu kulonda okujja okwa 2026, gyategereza nti banna Uganda balina okulabira ku muwendo gw’ababundabunda oguyingira mu Uganda nga badduka olw’entalo eziri mu mawanga gabwe.
Awadde eky’okulabirako eky’Abacongo ababundabunda abasoba mu mitwalo 700,000 abali mu Uganda yokka, nagamba nti embeera eyo tewali ajjakujikkiriza kutuuka mu Uganda.
Yebaziza abantu be Kasese okukitegeera nti emirembe gyetaagisa mu ggwanga nebasalawo okukola ebirala ebibatwala mu maaso, mu kifo ky’okudda mu ntalo zebaali basiimbye.mu nsozi ze Rwenzori.
Museveni akinogaanyizza nti anagezaako okwagala okutabangula eggwanga nga ali mu nda mu ggwanga, essasi wakuliwulira ku nnyama, so nga naabo abali ebweru we ggwanga nga bagala kwonoona mirembe kuno nti tewali kuwanaanya bakukolwako ate mu bwangu.
President Museveni agambye abagezaako okutanula entalo n’okutabangula eggwanga balabe ba nkulaakulana, nategeeza nti essira mu kiseera kino balitadde kukukola enguudo mu bitundu by’eggwanga byonna, okuzimba eggaali y’omukka, ebisaawe by’ennyonyi okutumbula eby’obulambuzi, saako okutuusa amasannyalaze mu buli kanyomero ka Uganda.
Agambye nti government ye esobodde okutuusa amasannyalaze mu district zonna eza Uganda, ng’oggyeko Buvuma.#













