Akakiiko keby`okulonda mu ggwanga kakangudde eddoboozi nekaboggolera bannabyabufuzi abalagira abantu babwe okusigala ku bifo ebironderwamu oluvanyuma lw’okumaliriza okulonda.
Akakiiko kagamba nti omuntu yenna olumala okulonda akwate ekkubo adde ewaka, kubanga amateeka tegamukkiriza kusigala mukifo ekironderwamu oluvanyuma lw`okumaliriza okulonda.
Ssentebbe w’akiiko keby`okulonda Omulamuzi Simon Mugenyi asinzidde mu lukuηaana lwa bannamawulire lwatuuzizza Ku kitebe ky’akakiiko, nategeeza nti omuntu yenna anaasigala mu kifo ekirondebwamu nayoolebwa abakuuma ddembe yenenyanga yekka.
Simon Mugenyi Byabakama abagambye nti abantu bokka abakirizibwa okukuuma akalulu bebo ba Agent babo abesimbyewo.
Mu mbeera yeemu akakiiko keby`okulonda kalabudde bannabyabufuzi abanoonya akalulu nga bakozesa olulimi oluvvoola bannabwe okweddako.
Ssentebe wa Electoral Commission Simon Byabakama era agugumbudde abakubira kakuyege ku nguudokino nti kikyamya era kimenya mateeka.
Simon Mugenyi Byabakama era agugumbudde abawagizi ba NRM abaakola efujjo ku nkambi ya Kyagulanyi bwebaali banoonya akalulu mu bitundu eby’e Mbarara.
Agambye nti buli muntu eyasunsulwa okuvuganya ku bukulembeze, alina okulekerwa eddembe lye ery’okukuyega abalonzi.
Bisakiddwa: Musisi John













