Omukka ogubalagala gumyoose nga police egumbulula abawagizi ba President w’ekibiina ki National Unity Platform era avuganya ku bwa president bwa Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu, bwabadde agenze mu gombolola ye Kawempe okubakuyega bamulonde mu kalulu akajja 2026.
Abasirikale ba police námagye baakedde kuyiibwa mu bungi mu kitundu ekyo, gyebigwereedde nga batandise kulwanagana nábawagizi ba Kyagulanyi ababadde bamuwerekera, nábalala nga bakuηaanidde ku kisaawe kya Bwaise Growers mu Kampala.
Ekiddiridde abadde ddukadduka era abantu ababadde bagenze ku lukuηaana nábabadde basigadde ku mirimu gyabwe nga bakakkalabya, omukka ogubalagala gubabunyizza emiwabo.

Omwogezi wa police Rusoke Kituuma agambye nti waliwo abantu abakwatiddwa nga kigambibwa nti bakubye nókulumya abasirikale babwe 7 nókwonoona emmotoka ya police.
Ebyo nga biri bityo, Robert Kyagulanyi Ssentamu avumiridde abakuuma abakuuma ddembe okukyankalanya enkuηaana ze, saako okulumya abawagizi be, nga babakubamu omukka ogubalagala.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyi agambye nti ekikoledwa abebyokwerinda ku bantu babwe,okubakubamu omukka ogubalagala kabonero akalaga nti Kyagulanyi tebaagala atuuse bubaka ku bantu be abamukkiririzaamu.

Ssabawandiisi w’ekibiina kino ekya NUP David Lewis Rubongoya agambye nti ekyabayingiza ebyobufuzi era nebasalawo ekibiina kya NUP kwekukyuusa eggwanga lino mu mirembe, sso ssi kuteekawo mbeera ya butabanguko.













