Ab’ekitongole kya gavumenti ekirwanyisa obulwadde bwa ssiriimu mu Uganda, ekya Uganda AIDS Commission beeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’amaanyi g’atadde mu kaweefube w’okulwanyisa nnawookeera wa ssiriimu.
Bakulembeddwamu Ssentebe wa Bboodi ya Uganda AIDS Commission Canon Dr. Ruth Ssenyonyi nebakiika embuga, okulaga kaweefube ono bwayimiridde okuva Ssaabasajja Kabaka lweyamuwomamu omutwe.
Bategeezezza nti omulimu ogukoleddwa gwa ttendo nnyo, era nebamusaba gwongere okusesebwamu.
Mu alipoota abakulu gyebaanjulidde Katikkiro balaze nti okusaasaana kwa ssiriimu mu Buganda kukendedde era nebalaga essuubi nti ssinga abantu ba Kabaka tebasuula ngabo, ssiriimu wakulinnyibwa ku nfeete.
Wabula balaze okutya olw’omuwendo gw’abaana abakyazaalibwa n’akawuka, nga mu mwaka oguwedde 2024 gwokka abaana 4700 baazaalibwa n’akawuka, nebasaba wabeewo eky’amangu ekikolebwa ku mbeera eno.
Katikkiro mu bubaka bwe, azzeemu okusaba abantu ba Kabaka okusitukiramu beenyigire mu lutalo luno ssekinnoomu, n’okuddamu okusaba abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Mu mbeera eno, aba Uganda AIDS Commission bazizza buggya endagaano y’obwasseruganda n’Obwakabaka bwa Buganda okutuusa 2030 nga bakolagana mu kulwanyisa mukenenya.
Endagaano eno eteereddwako emikono Owek. Cotilda Nakate Kikomeko minsita wa Kabaka Ow’enkulaakulana y’Abantu omugwa eby’obulamu ate Dr. Nelson Musooba ssenkulu wa Uganda AIDS Commission n’assaako ku lw’ekitongole.
Ebitundu mu Buganda ebinokoddwayo ng’ebikyalimu ennyo siriimu kuliko Kyotera, Buikwe, Wakiso, Mukono, Nakaseke n’ebizinga naddala Buvuma.#
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K












