Ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amatikkirwa ga Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II,agagenda okukuza ku muzikiti e Kibuli nga 31 July,2025, Minister w’amawulire , okukunga abantu era omwogezi w’Obwakavaka owek, Isreal Kizibwe Kitooke atongozza ekiyitirirwa ekyaddaabiriziddwa ku luguudo Nneebalamye Mayanja, ng’Oluguudo luno omulangira abeera agenda okulya Eηηoma ya Buganda kwayitira okutuuka e Nnaggalabi Buddo gy’atikkirirwa.

Ekiyitirirwa ekiddaabiriziddwa kyekiggulawo Nneebalamye Mayanja, nga kisaangibwa mu muluka gwa SsAabawaali Sseguku mu ggombolola ya SsaAbagabo Lufuka mu ssaza Kyadondo.
Kyadabiriziddwa aba Nican Resort wamu ne ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika.

Owek. Nassejje Mariam Nkalubo Mayanja, minister wa bulungi bwansi , Obutonde bwensi , amazzi n’ekikula ky’abantu asoomozozeza abantu abawangaalira ku luguudo luno okukuuma ekitiibwa kyalwo ngabasimbako emiti ginaansangwa naddala emivule.

Mathias Kayija Ssaabagabo Lufuka wamu neeyaliko omwami w’eggombolola eno Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene basiimye omutetegga olw’amAanyi gaAtadde mu nsonga yabulungi bwansi.
Ebimu ku byafaayo bya Nneebalamye Mayanja:
Oluguudo Nneebalamye Mayanja, Ssaabataka Sseggwanga Musota Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II kweyayita okutuuka e Nnaggalabi, Buddo mu ssaza Busiro bweyali agenda okutikkirwa.
Oluguudo luno lutandikira Sseguku nerugguka e Buddo.
Munnabyafaayo Mukasa Kafeero Nnabe,agamba oluguudo luno luliko ensonga nnyingi ezirutaambulirako, mu nteekateeka z’amatikkira.
Ku luguudo luno kuliko ekitundu ekiyitibwa Katale, era wano wewaalinga omuwafu ogwakolanga akatale, Ssaabataka ayimirirawo nebamusibirira ebyokulya, nga yetegekera olutalo lw’ebirumbirumbi.
Ku luguudo luno Nneebalamye Mayanja kuliko ekyalo Kikajjo, wano Ssaabataka waggya ekikajjo ky’agenda nakyo nga yetegekera olutalo. Ab’ekika ly’engabi bebakola omulimu gw’okutema ekikajjo ekyo nebakimukwasa.
Ate ku kyalo Kasenge ekiri ku luguudo luno lwe lumu, Ssaabataka wakyusiza engoye z’abeera agyiddemu naawebwa endala, era omukolo guno gukolebwa ab’ekika ky’Ekkobe, olwo naayolekera Naggalabi Buddo gy’atuuzibwa ku Nnaamulondo.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo ya Bajjajjabe nga 31 July,1993, naafuuka Kabaka wa Buganda owa 36.











