• Latest
  • Trending
  • All
President Museveni alonze Flavian Zeija ng’omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda – kooti enkulu n’ensukkulumu nazo azoongedde abalamuzi

President Museveni alonze Flavian Zeija ng’omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda – kooti enkulu n’ensukkulumu nazo azoongedde abalamuzi

February 7, 2025

Masaza cup 2025 – M0awogola eyanjudde Asaph Mwebaze ng’omutendesi omujja

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University

May 20, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

President Museveni alonze Flavian Zeija ng’omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda – kooti enkulu n’ensukkulumu nazo azoongedde abalamuzi

by Namubiru Juliet
February 7, 2025
in Amawulire
0 0
0
President Museveni alonze Flavian Zeija ng’omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda – kooti enkulu n’ensukkulumu nazo azoongedde abalamuzi
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Amaka g’obwa president gakakasizza okulondebwa kw’abalamuzi abawerako okuli amyuka Ssaabalamuzi w’eggwanga n’abalamuzi ba kkooti enkulu.

Amaka g’obwa president mu mbeera eno, gafulumizza olukalala lw’abalamuzi abalonde, nga kino kisanguddewo ekiwandiiko ekibadde kifulumiziddwa akakiiko k’eggwanga akavunanyizibwa ku kulondoola essiga eddamuzi ka Judicial Service Commisson , akabadde kasambaze ebyokulondebwa kw’abalamuzi bano.

Amawulire g’okulondebwa kw’abalamuzi bano gaafulumye mu kiro kya Thursday nga 6 February,2025, wabula akakiiko ka Judicial Service commisson nekabyegaana nti tekabimanyiiko, okutuusa amaka gobwa president bwegafulumizza ekiwandiiko ekiraga olukalala lw’abalamuzi abaalondeddwa omukulembeze w’eggwanga.

Abalamuzi abaakakasiddwa amaka g’obwa president nti balondeddwa kuliko akulira kkooti enkulu Flavian Zeija kati nga yalondeddwa nga omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga okudda mu bigere bya Richard Buteera agenda okuwummula.

Omulamuzi Muzamil Kibeedi asuumusiddwa okuva mu kkooti ejjulirwamu natwalibwa mu kkooti ensukkulumu.

Abalamuzi 8 basuumusiddwa okuva mu kkooti enkulu  okugenda mu kkooti ejjulirwamu nga bano kuliko Omulamuzi Musa Ssekaana, Sabiiti Cornelia Kakooza, Stella Alibateesa, Florence Nakacwa n’omulamuzi Byaruhanga Jesse Rugyema.

Abalamuzi abalala abatwaliddwa mu kkooti ejjulirwamu kuliko Musisi John Mike , Ketra Katariisibwa Katunguka, nomulamuzi Ester Nambayo.

President Museveni era alonze abalamuzi ba kkooti enkulu ab’ekiseera kuliko Sarah Langa Siu abadde akulira abawandiisi ba kkooti zonna mu ggwanga, yoomu ku balondeddwa nga omulamuzi mu kkooti enkulu.

Abalala kuliko Rosemary Bareebe Ngabirano, Mary Babirye, Liliam Alum Omara, Charles Kasibayo, Mary Kaitesi Kisakye, Susan Odongo, Karooli Ssemogerere, Joanita Gertrude Bushara  ne Simon Peter Kinobe Mutegeki nga ono yaliko President w’ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga.

Abalala ye Vincent Opyene, Sarah Birungi Kalibbala, Isaac Teko Bony, Fatuma,Nanziri Bwanika , Flavia Grace Lamuno, Ida Nakiganda n’abalala.

Amaka gobwa president mu kiwandiiko ekikakasa okulondebwa kwabalamuzi bano, gagambye nti ebikwata ku bantu abalondeddwa bisindiikiddwa eri parliament okubakubamu ttooki.#

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Masaza cup 2025 – M0awogola eyanjudde Asaph Mwebaze ng’omutendesi omujja
  • Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge
  • Kyabazinga Gabula Nadiope IV atikiddwa masters degree eyokubiri okuva mu Yale University
  • Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35
  • Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -