Abakulembeze b’ekisinde kya DP Block batongozza ekisinde kyebatuumye Democratic Alliance omwegattira ebisinde ebyenjawulo n’ebibiina by’obufuzi, nekigendererwa ky’okugatta abantu abalina endowooza ezawamu okulwanirira enkyukakyuka y’eggwanga lino.
Omubala gw’ekisinde kino gugamba nti “New day, New way”
Mu Democratic Alliance eyeyubudde okuva mu DP block mulimu bannaDP abaayawukana ku kibiina ki DP, abatakaanya n’obukulembeze bwa Nobert Moa, ekisinde kya My Leader nebannabibiina ebirala.
Omubaka wa Nyendo Mukungwe era Kommissiona wa Parliament Owek Mathius Mpuuga Nsamba bwabadde atongoza ekisinde kino ekiggya, ku mukolo ogubadde ku Maribu Gardens ewa Bbakuli e Mengo, agambye nti ekisinde kino kigenda kuzannya ebyobufuzi ebyekisajja kikulu, nga kitambulira ku mpisa, okuwangana ekitiibwa n’ebirala.
Agambye nti ekisinde kino kigenda kukolagana n’ebibiina ebirala ebiri ku mulamwa gw’okukyuusa obukulembeze bwe ggwanga lino.
Mu ngeri yemu agambye nti enteekateeka gy’atandikirako kwekutereeza eby’okulonda mu ggwanga era asuubiza abawagizi be nti enteekateeka eno agenda kujirwanako mu parliament abantu bave mu kulwanira ebifo, wabula bafeeyo okukola ku nsonga ezigasiza awamu abantu.
Mpuuga annyonyodde nti omukago gwa Democratic Alliance gulina entegeka y’okufuuka ekibiina ky’obufuzi, okukyusa obukulembeze n’enzirukanya y’eggwanga, era nti bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga batambuza enjiri yakyo.
Akoze endagaano ne Patrick Mulwana Allien Skin, nga mu ndagaano eno bagamba nti agenda kukyuusa abavubuka abaali baawubisibwa.
Omukolo guno gwetabidwako abakulembeze abe njawulo okuli Abed Bwanika ,Mickeal Mabike, Lubega Mukaaku,Kasibante Moses nabalala bangi.#