Omulamuzi wa kkooti e Makindye azizzaayo ku alimanda e Luzira omuyimbi Patrick Mulwana amanyiddwa nga Allien Skin ne munne Mugabi Julius eyeeyita Julio.
Bakudda mu kooti nga 28 November, 2024 bewozeeko ku misango gy’okukuba abamu ku bakozi n’abasawo mu ddwaliro e Nsambya, bwebaali bagenze okulaba munnabwe eyali atwaliddwayo ng’afunye akabenje.