Ensibuko y’ekitooke buli omu aginyumya bubwe okusinziira ku ndaba ye ey’ebintu.
Abamu bagamba nti ekitooke kyava mu Guinea (West Africa) abalala nti kyava mu nsiko y’omu mawanga omuli Malaysia, Indonesia ne Philippines olwo abasuubuzi abawarabu ne bakituusa mu Africa.
Ate abamu bagamba nti Kintu ne Nambi be baaleeta ekitooke nga bava ewa Ggulu.
So nga ate abamu bagamba nti kyaleetebwa Kibuuka omumbaale naasikimba mu Mawokota era olwakisimba naatandikirawo okulwana entalo ze yalwana.ekitooke kye yasimba yakituuma erinnya Manyagalya.
Ebyo nga bitambudde bityo kizibu okwawukanya omuganda n’ekitooke oba n’ettooke anti akirinako ebirungi njolo.
Omuganda yatuuma ebitooke amannya agatali gamu omuli: Ssiira, Nakabululu, Muvubo, Musakala, Nakinnyika, Mukubyakkonde, Nakyetengu, Nakabululu, kibuzi, Nnamwezi, wano wayagattirako Gonja, Bbogoya, Ndiizi, Musa ne Kisubi.
Emigaso gy’ekitooke eri omuganda:
– Okulyako emmere ( omuwumbo oba eminwe oba amenvu)
– Okusogolamu omubisi ( kayinja, Musa oba Kisubi)
– Endagala okuzifumbisa emmere.
– Endagala okuzisabikamu ebintu nga ettooke erigenda ku buko.
– Endagala okuzisibamu ennyama/ ettu ly’ennyama.
– Endagala okuzikolamu empombo mwe bafumbira enva.
– Endagala okuzikolamu endeeba ( olumu luleeba ) lwebanaalizaamu abantu eddagala.
– Emizongaoonyo/ emigongoonyo okugikolamu obukeedo.
– Emigongoonyo okugyaliira mu ntamu nga bafumba emmere
– Emigogo okubikka olusuku.
– Emigogo okuggyako ebinyirikisi okunaaza omufu.
– Emigogo okugogombolako ebigogo ne babinaabisa mu ngalo nga abava okuziika.
– Emigogo okubikka olusuku okuleeta obunnyogovu.
– Ebyasi bisereka enju
– Ebyayi bisiba ebintu
– Ebyayi biterekebwamu eby’okulya nga ebinyebwa, kaawa, emberenge.
– Ebyayi bisiba enku nga omuntu ava okuzityaba mu kibira oba okuzigula.
– Ebyayi bisona omukeeka.
– Ettooke litonwa nga ekirabo.
– Ettooke litundibwa omuntu naafunamu ensimbi.
– Ekitooke abakola okunoonyereza bibayamba okubaako bye banoonyerezaako.
– Embidde esogolwamu omubisi oguvaamu omwenge.
– Ebigogo abaana babizannyisa nga bakolamu engatto.
– Omuziηoonyo abaana bagukozesa okuzannya nga bagamba bazadde abaana naddala abawala,
– Abalenzi bazannyisa omuziηoonyo ng’emmundu.
– Emigogo gyeyambisibwa okukwata ettaka mu nnimiro ng’abantu bakola obulimiro obutono.
– Emigogo gyeyambisibwa okukola ekitaliri.
– Ebigogo bivumbikibwaamu eby’okulya ng’amagi, emmere n’ebirala.
– Olulagala lweyambisibwa nga eky’okwambala nga babikka ku bitundu ebikwasa ensonyi.
– Olulagala lwebikkibwa nga manvuuli mu budde obw’enkuba.
– Amenvu gafumbibwa ne galiibwa nga emmere.
– Ebyayi birukibwaamu ebiwempe / ebirago.
– Ebyayi bikolesebwa mu kutimba mu nju.
– Ebyayi bikolebwaamu emikeeka okutuulwa.
– Ettooke litwalibwa ku buko.
– Ettooke livaako ebikuta ebiriibwa ensolo.
– Ettooke livaako ebikuta ebikolwamu obugolo
– Ebikuta by’ettooke bikozesebwa mu kukoomera ensuwa wamu ne kaabuyonjo.
– Ebikuta by’ettooke bikozesebwa okugimusa ennimiro nga bivunze.
– Essanja lyeyambisibwa mu kuzimba ensiisira mu lumbe.
– Essanja likozesebwa mu kuzimba enju/ okusereka wamu nookuwomeka mu mayumba ag’ettaka.
– Essanja likozesebwa okukola enzigi mu nju ez’essubi ne ku kabuyonjo.
– Essanja likolwamu ssemufu akanga ebinyonyi mu nnimiro/ obukookolo.
– Essanja lyesibwa omuntu abeera agenda okuyita mu musulo omungi (abyambala)
– Essanja likozesebwa mu kukoomera kaabuyonjo.
– Essanja likozesebwa mu kubabula empombo.
– Essanja likozesebwa mu kubabula embizzi.
– Essanja likozesebwa okukuuma ebbugumu mu kwengeza amenvu.
– Olusanja lwa gonja lweyambisibwa okuyisa mu kazigo k’omuntu kagaziwe.( ssenga we yakikola nga omwana alina akazigo kafunda mu kamwa nga ayagala kagaziwe.)
Bikuηaanyiziddwa: Godfrey Male Busuulwa