Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Sseggwanga Musota Ronald Muwenda Mutebi ll, asiimye naalabikako eri Obuganda, mu kuggalawo Empaka z’Emipiira gy’Amasaza 2024.
Ssaabasajja bwatuuse e Namboole libadde ssanyu jjereere, era Abantube katono bafe essanyu bwebamulabyeko.
Ekisaawe kye Namboole kyonna kibuutikiddwa enduulu ey’oluleekeleeke etutte eddakiika eziwezeeko ng’abantu bwebanuuka ensingo okulaba ku Mutanda.
Nnyininsi asiimye n’atambula okwetoloola ekisaawe kyonna nga bwawuubira ku bantu.
Magulunnyondo oluvannyuma atudde ku Nnamulondo omupiira n’agwota buliro, era gyeguggweredde nga batabani ba Pookino bawangudde goolo 1 -0.
Mu kusooka wabaddewo Omupiira wakati wa Buweekula ne Kyaddondo nga guno gugenze okuggwa nga Buweekula ebala goolo 3-1.#