Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza kaweefube w’okubunyisa enkola ey’Obuntu bulamu okwetoloola Uganda yonna.
Omukolo gubadde ku Sheraton hotel mu Kampala.
Nnaabagereka agambye nti enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula empisa mu bavubuka n’abantu bonna awatali kusosola mu mawanga, era egenda kutambuzibwa mu ggwanga lyonna.
Okwewala emize okuli obulyi bw’enguzi, obubbi, obukumpanya, Obulyake, Obulabbayi, okukola efujjo, obutabanguko mu Maka, okusanyawo obutonde bwensi, nemize emirala mingi.
Enteekateeka eno yakutambulira mu kitongole kye ekya Nnaabagereka Development Foundation.
Government eyawakati esuubizza okuyambako Nnaabagereka enteekateeka eno eveemu ebibala.
Mu bubaka bw`Omumyuka wa President Retired Maj. Jesca Alupo, Obumusomeddwa Minister w’abakozi, ekikula ky’abantu n’enkulakulana y’abantu Betty Amongi, agambye nti ebizibu ebisinga okukosa eggwanga ensanja zino, Omuli obubbi, obuli bwenguzi, obukumpanya, obutemu, nebirala, bivudde ku bantu ku gwamu buntu bulamu.
Omukolo guno gwetabyeko abantu bangi ddala, okubadde Minister Omubeezi owa Technologiya nebyuma bikalimagezi Owek Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Omumyuka ow`Okusatu owa Katikkiro we Japadhola, era ng`ono yavunanyizibwa ku bitundu okuli Wakiso, Ntebbe, Mukono nebitundu ebirala wano mu Buganda Ursher Wilson Owere, agambye nti bo nga abakulembeze abennono bagenda kufuba okubunyisa enteekateeka Eno ey`Obuntubulamu.
Akikirira United Nations Development Programme UNDP mu Uganda, Nwanne Vwede Obahor, agambye nti bakukwatagana ne Nnaabagereeka okulaba ng`enteekateeka eno ey`Obuntubulamu ebuna mu ggwanga lyonna n’ensi yonna okutwaliza awamu.
Bisakiddwa: Musisi John