Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu butongole agguddewo omwoleso gwa Buganda Ggaggadde 2024.
Asabye abantu mu Buganda ne Uganda, okwettanira okumanya n’Okuyiga ebintu ebipya, okugaziya okumanya kwabwe.
Abawadde amagezi nti bettanire nnyo emyoleso nti ly’Ekkubo abantu mwebagenda okuyita okumanya n’Okuvumbula ebintu ebirungi.
Katikkiro asabye aboolezza mu mwoleso oguyindira mu Lubiri e Mengo, okulowooza ku katale akenkya, n’Okwegyamu endowooza y’Okufunirawo ensimbi ez’amangu ,olwo bawangaalire mu mirimu gyebakola.
Mungeri eyenjawulo, Katikkiro asabye abantu mu Buganda okwettanira Ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda yonna, n’Okunoonya emikisa gy’Okumanya Obuwangwa bwabwe n’Ennono.
Minister w’Obuwangwa n’Ennono, Embiri, Amasiro n’Ebyokwerinda, Owek Anthony Wamala, agambye nti ebintu ebireeteddwa mu mwooleso gw’Omwaka guno byankizo okusinga ku byali bireeteddwa, naasaba abantu ba Kabaka okugujjumbira.
Ssentebe wa boodi y’Ebyobulambuzi mu Bwakabaka Omuk Benon Ntambi, asabye abantu mu Buganda ne Uganda okwongera okujjumbira emyooleso n’Okwagazisa abaana abato okulambula.
Omukubiriza w’Abataka ab’Obusolya Omutaka Augustine Kizito Mutumba, asabye buli ayagala okubaako kyatandikawo okufuna ku nsimbi, eyiteko mu Lubiri, asomesebwe abakugu mu byenfuna ne mu byobulimi n’Obulunzi.
Bisakiddwa: Kato Denis