Nnaabagereka Sylvia Nagginda awadde abakyala amagezi okwettanira enkola eya Tekinologiya okufuna obukugu obumala ku bikwata ku mirimu egyenjawulo.
Nnaabagereka abadde aggulawo Ttabamiruka w’abakyala owoomulundi 9 mu mwaka 2025.
Ttabamiruka ayindidde mu Lubiri lwa Ssabasajja Kabaka e Mengo, abadde ku mulamwa ogugamba nti Twongere okuwagira emirimu gy’abakyala ku lwenkulakula eya Namaddala.
Nnaabagereka agamba nti abakyala bwebanakozesa Tekinologiya w’ebyempuliziganya obulungi, kyakubayamba okufuna obutale gyebatunda eby’amaguzi byabwe n’okufuna obukugu obwenjawulo obukwata ku mirimu gyebakola.
Nnaabageraka era akuutidde abakyala obuteerabira buvunaanyizibwa bwabwe mu maka waddenga bakwatagana n’ebintu ebyenjawulo bingi.
Omumyuka asooka owa Katikkiro era minister wa Tekinologiya Owek Dr Twaha Kawaase yaggaddewo ttabamiruka ono, asabye abakyala okuteeka essira mu kukuuma ettaka n’okwenyigira mu nsonga z’ebyobufuzi
Owek Mariam Mayanja Nkalubo Minister wa Bulungibwansi Obutondebwensi Amazzi n’ekikula ky’abantu mu bwakabaka, asabye Obwakabaka okukwasizaako abakyala mu Buganda okwettanira enkola ya Tekinologiya mu nkola ey’emirimu.
Mu Ttabamiruka ono abakyala babanguddwa mu bintu ebyenjawulo omuli emisomo gy’ebyettaaka ,okwekulakulanya ,ebyenfuna,Eby’obulamu,enkuza y’abaana n’emisomo emirala mingi.
Basanyusiddwa abayimbi abenjawulo wamu n’ikumanyagana eranga gwe tabiddwako abantu abenjawulo omuli Baminister ba Buganda ,Bannabyabufuzi abakulembeze ba Bakyala mu ggwanga ne Buganda .
Bisakiddwa: Nakato Janefer