buguddewo Amalwariro abiri, okuli eddwaliro Lya Muteesa II Health Center mu Gombolola ye Nsangi mu Saza Busiro, ne Muteesa II Health Center e Kalasa mu Saza Bulemeezi,gagguddwawo ng’egimu ku mikolo gy’okujjukira nga bwegiweze emyaka 31 ng’Omutanda Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi atudde ku Namulondo.
Nyinimu Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiina okuzimba Amalwaliro mu Masaza agenjawulo nekigendererwa okutuusa obujanjabi obusookerwako eri abantu be kundwadde ez’enjawulo.
Edddwaliro erisangibwa e Nsangi lizimbiddwa Obwakabaka nga bukolagana ne bannamikago aba Emirate Crescent.
Mu kuggulawo eddwaliro lya Muteesa II Health Center e Nsangi mu Busiro, Kamala Byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, akiikiriddwa Minister w’amawulire, Okukunga abantu era Omwogezi w’ Obwakabaka Owek.Israel Kazibwe Kitooke.
Katikkiro asabye abantu ba Kabaka mu kitundu kino okwettanira okufuna obujanjabi okuva mu eddwaliro lino.
Minister w’obuwangwa n’Ennono ,Embiri n’Ebyokwerinda mu bwakabaka Owek. Dr. Anthony Wamala era Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emikolo gy’Amatikkira ,bwabadde mu kuggulawo eddwaliro lye Kalasa mu Bulemeezi ategeezezza nti ebyobulamu bikulu nnyo mu Bwakabaka, nga bisaanye okuteekebwa ku mwanjo .
Owek. Anthony Wamala era asabye abakwasiddwa omulimu gwokuddukanya eddwaliro lino okutuukiriza obuvunanyizibwa obubakwasiddwa.
Minister we byenjigiriza, ebyobulamu, Enkulakulana y’ Abantu ne wofiisi ya Nabagereka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, yeebazizza nnyo abantu ba Kabaka mu Masaza gonna, abalina kyabakoze ku mulimu gw’okuzimba Amalwariro, era akakasizza nti Obwakabaka bwetegefu okwongera amaanyi mu by’obulamu.
Omumyuka Asooka owa Ssebwana Dr Grace Stevens Sseruyange, yeayanzizza nnyo Empalabwa olw’amaanyi gaatadde mu kutumbula ebyobulamu mu Buganda, nga ateerawo abantu be Ensiisira z’ebyobulamu nebafuna obujanjabi ku ndwadde ez’enjawulo, saako nokubazimbira amalwaliro.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius