• Latest
  • Trending
  • All
President Museveni alabudde  ku nkozesa embi ey’emikutu gy’ebyempuliziganya – ababikulira mu nsi yonna basisinkanye mu Uganda okusala amagezi

President Museveni alabudde ku nkozesa embi ey’emikutu gy’ebyempuliziganya – ababikulira mu nsi yonna basisinkanye mu Uganda okusala amagezi

July 2, 2024
Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

May 25, 2026
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

May 25, 2026
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

May 25, 2026
Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

May 24, 2026
Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

May 24, 2026
Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

May 24, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

May 23, 2026
Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

May 23, 2026
Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

May 23, 2026
Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

May 22, 2026
Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

May 22, 2026
Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

May 21, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Business

President Museveni alabudde ku nkozesa embi ey’emikutu gy’ebyempuliziganya – ababikulira mu nsi yonna basisinkanye mu Uganda okusala amagezi

by Namubiru Juliet
July 2, 2024
in Business
0 0
0
President Museveni alabudde  ku nkozesa embi ey’emikutu gy’ebyempuliziganya – ababikulira mu nsi yonna basisinkanye mu Uganda okusala amagezi
0
SHARES
262
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abakulembeze b’ebitongole ebirungamya eby’empuliziganya munsi yonna basisinkanye mu Uganda, okukubaganya ebirowoozo.ku ngeri y’okukozesaamu enkola za Tekinologiya eyeyongera okukula, okukulaakulanya amawanga gabwe mu kifo ky’okugatabangula.

Basisinkanye mu lutuula lwabwe olumanyiddwa nga International Telecommunications Union global symposium for regulators oluyindira ku Speke Resort e Munyonyo.

Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alabudde nti awatali kulambika mikutu gya mpuliziganya kimala ku nkozesa ya tekinologiya, kyandisuula ensi eno mu buzibu, naasaba nti tekinologiya akyuukakyuuka buli ssaawa aleme kukozesebwa kutabangula mirembe munsi eno.

President Museveni agamba nti awatali kukola kulungamizibwa kumala ku nkozesa ya tekinologiya, ebyenfuna wamu n’Ebyobufuzi biyinza okutabangulwa, naasaba tekinologiya aleme kweyambisibwa kutabangula nsi eteese mu kiseera kino.

Abadde aggulawo olukungaana luno, ng’akiikiriddwa  omumyuukawe Jessica Alupo.

Asabye  abaddukanya emikutu gy’ebyempuliziganya okusaawo enkola eziyambako okulungamya enkozesa ya tekinologiya w’ebyempuliziganya aleme kukozesebwa mu kutabangula emirembe, wabula okuyambako mu kusitula ebyenfuna.

Ssaabawandiisi w’Omukago gw’ekibiina ky’Amawanga amagatte ogutaba ebyempuliziganya, Doreen Bogdan Martin, ategeezezza nti ku amawanga 193 gannamukago, amawanga ebitundu 85% tegannaba kufuna kulungamizibwa ku nkozesa ya tekinologiya omuggya amanyiddwa nga Artificial Intelligence, kyagambye nti kyandiviirako enkozesa ya tekinologiya embi okweyongera.

Minister wa tekinologiya n’Okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi, agambye nti government  ng’eyita mu kitongole ekirungamya eby’empuliziganya ki UCC, yakunyweeza amateeka agafuga ebikolebwa ku mitimbagano, okulaba nga tekinologiya tayingirira ddembe lya buntu nakulitabangula.

Ssenkulu wekitongole ekirungamya ebyempuliziganya mu Uganda ki Uganda Communications Commission  George William Nyombi Thembo, asabye wabeewo enkolagana wakati w’Ebitongole ebirungamya eby’empuliziganya mu Mawanga gannamukago 193, kisobozese abantu okukozesa tekinologiya awatali kutya.

Okusinziira ku Alipoota y’Ekibiina ky’Amawanga amagatte ekirungamya ebyempuliziganya, abantu obuwumbi 2.6 tebannayungibwa ku nkozesa ya tekinologiya w’ebyempuliziganya, olwokutya ebizibu ebiggiriko, n’Obutamanya nkozesa ya tekinologiya evaamu ensimbi.

Abetabye mu lutuula luno bakkiriziganyizza okubeera nga bawangana amagezi ku nsonga ezibalukawo, eziva ku nkozesa ya tekinologiya.

Bisakiddwa: Kato Denis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa
  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo
  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo
  • Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966
  • Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist