President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museven asabye bannaddiini okwongera okukubiriza abaana abato n’abavubuka okwettanira okumanya n’okuwagira ebintu ebibaliraanye bisobole okukulaakulana, okusiinga okwemalira ku by’abagwiira.
President Museven abadde ayogerako eri enkuyaanja y’abantu abalamze e Namugongo okujjukira olunaku lw’abajulizi 03 June,2024.
Awadde eky’okulabirako eky’abavubuka abettanira ebikwata ku muzannyo gw’omupiira mu Bungereza, kyokka nga ttiimu zabwe eza Uganda ne Africa yonna tebalina kyebamanyi.

President Museven annyonnyodde nti amanyi bulungi era yagoberera ebyaliwo mu myaka gye Nkaaga, okutuuka okulaangirira abajulizi ba Uganda mu lubu bw’abatuukirivu era abesiimi mu 1964.
Agambye nti obudde bwebamalira ku by’abagwiira bwebasaanye okukozesa okunoonyereza n’okwettanira ebikwata ku nkulaakulana ya Africa.
President Museven era azzeemu okulabula abali b’enguzi bagambye nti siwakubakkiriza kuyinaayina, nti kubanga ebikolwa byabwe tebiraga kwagala nsi yabwe, wadde okwerekereza olw’enkulaakulana y’ensi yabwe, ng’abajulizi bwebaafiirira eddiini mu Uganda.
Agambye nti wakwongera okuttaanya ku nsonga eno ey’enguzi, mu kwogerako okutongole eri eggwanga.

Abagambye nti abajulizi bewaayo olw’eddiini era balina omukululo gwebaaleka ku lw’enkulaakana ya Uganda eyongedde abalambuzi okujja e Namugongo.
Asuubizza nti government ye yakwongera okuwaayo ensimbi okukulaakulanya ebiggwa by’abajulizi byombi eky’abakatoliki e Bulooli n’eky’abakulisiyaayo e Nakiyanja.

President Museven awerekeddwako mukyala we era minister w’ebyemizannyo Janet Kataha Museven.

Mu ngeri yeemu President Museven akiikiriddwa sipiika wa parliament Anitah Among ku kiggwa ky’abakulisitaayo, era nayo obubaka bwe yabutuusizzaayo.
Mu kusooka ku kiggwa ky’abakatoliki, Ssaabaminister Robinah Nabbanja yebazizza president Museven olw’enguudo ezigatta ku bitundu bya Uganda ebyenjawulo, zaagambye zaasobozesezza abalamazi okutambula obulungi okulamaga olw’e Namugongo.#












