• Latest
  • Trending
  • All
Nnaabagereka yegasse ku kaweefube w’okukwasizaako omwana Joel atawaanyizibwa omugejjo – abazadde balabuddwa obutasirika busirisi ng’abaana babwe bayita mu mbeera ezitali za bulijjo

Nnaabagereka yegasse ku kaweefube w’okukwasizaako omwana Joel atawaanyizibwa omugejjo – abazadde balabuddwa obutasirika busirisi ng’abaana babwe bayita mu mbeera ezitali za bulijjo

May 28, 2024

Ebimu ku birambikiddwa mu kulayiza president Yoweri Kaguta Museveni ku kisanja eky’omusanvu 2026/2031

May 11, 2026
Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

Abadde Commissoner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza abantu b’e Masaka olw’okumwesiga emyaka 15 ng’abakiikirira mu parliament

May 11, 2026
Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

May 10, 2026

Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba

May 9, 2026
Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

May 8, 2026
Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

May 8, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Abaluηηamya b’emikolo balambikiddwa ku ntambuza y’emikolo gy’ennono – bakomye katemba mu mikolo gy’okwanjula

May 7, 2026

Emipiira gy’empaka z’ebika by’Abaganda zongezeddwayo

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Bus ya kampuni ya Link ekutte omuliro neebengeya ku luguudo lw’e Mityana – abasaabaze basimattuse

May 7, 2026

Omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – okuva nga 8 okutuuka nga 14 June mu Lubiri e Mengo

May 7, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Nnaabagereka yegasse ku kaweefube w’okukwasizaako omwana Joel atawaanyizibwa omugejjo – abazadde balabuddwa obutasirika busirisi ng’abaana babwe bayita mu mbeera ezitali za bulijjo

by Namubiru Juliet
May 28, 2024
in BUGANDA
0 0
0
Nnaabagereka yegasse ku kaweefube w’okukwasizaako omwana Joel atawaanyizibwa omugejjo – abazadde balabuddwa obutasirika busirisi ng’abaana babwe bayita mu mbeera ezitali za bulijjo
0
SHARES
175
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ekitongole kya Nnabagereka Fund kyegasse ku kaweefube w’okukwasizaako omwana mulenzi Joel Grace Mwanja ow’emyaka 12 ali ku lutalo lw’okulwanyisa  omugejjo, asobole okudda mu mbeera entuufu ng’abaana abalala.

Omwana ono Joel Grace Mwanja, nnyina Margaret Nabatanzi agamba nga yamuzaala ng’azitowa kkiro 3.2, wabula bweyagenda akula n’asaka omubiri ogwamuleetera okuweza kkiro 177 ku myaka 12 egy’obukulu.

Omugejjo guno gwamuleetera okufuna ebirwadde okuli ssukaali, amasavu mu musaayi, okukaluubirizibwa mu kussa n’okwogera wamu n’okuboolwa ku masomero.

Nabatanzi agambye nti awuubye omwana mu malwaliro ag’enjawulo wabula nga n’ensimbi z’obujjanjabi zimwekubya mpi, nti kubanga buli wiiki beetaaga ensimbi obukadde bwa shs wakiri bubiri okufuna eddagala.

Coach Richard Mawanda ne Joel Grace Mwanja

Oluvannyuma Joel yakwasibwa omukugu mu by’okukozesa obubiri, Coach Richard Mawanda (Coach Rickie) okumuyambako asale ku mugejjo.

Coach Rickie agambye nti mu bbanga ery’omwezi gumu ly’amaze n’omwana ono, waliwo enjawulo nnene kubanga eyali azitowa kkiro 177 kati asazeeko 3, eyali atambulira eddakiika emu, kati asobola okutambula eddakiika 30, onga n’olulimi lwetadde era kati osobola bulungi n’okwogera eddoboozi nerivaayo.

Omukugu mu ndwadde z’obwongo okuva mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Hafiswa Lukwata yeebazizza nnyo Nnaabagereka ne bannamikago abalala abawomye omutwe mu nteekateeka y’okulwanyisa endwadde z’obwonga okuli I&M Bank, Airtel Uganda ne UCC olwa kaweefube ono, n’asuubiza ku lwa ministry okuyamba mu ngeri yeemu.

Dr.Hafiswa Lukwata

Dr. Lukwata agambye nti omugejjo mu baana tegukosa mubiri gwokka wabula n’obwongo kubanga omwana oyo aba takyayala mu banne, tasobola kuzannya na banne, awulira okusosolebwa ekimuviirako okukabirirwa mu bwongo olwo nabwo nebukosebwa.

Dr. Lukwata awabudde abazadde okuyamba abaana nga babawa emmere entuufu, nga babakkiriza okuzannya, babawa obudde obumala okuwummula n’okubabeera lwebeetaaga okuwulirizibwa.

Minister w’enkulaakulana y’abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Cotilda Nakate Kikomeko asabye abazadde okwewala okusirikira ebizibu ebituuka ku baana babwe, nti kubanga bwebeesowolayo lwebafuna abayinza okubayamba.

Owek. Nakate asabye abazira kisa okuyamba ku baana ab’engeri eno kubanga bangi gyebali eyo abeetaaga okuyambibwa.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ebimu ku birambikiddwa mu kulayiza president Yoweri Kaguta Museveni ku kisanja eky’omusanvu 2026/2031
  • Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda
  • Abadde Commissoner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza abantu b’e Masaka olw’okumwesiga emyaka 15 ng’abakiikirira mu parliament
  • Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira
  • Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist