• Latest
  • Trending
  • All
Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba mu Uganda 2024 – lyesigamiziddwa ku bubaka obw’okusonyiwagana n’okutabagana

Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba mu Uganda 2024 – lyesigamiziddwa ku bubaka obw’okusonyiwagana n’okutabagana

March 29, 2024
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba mu Uganda 2024 – lyesigamiziddwa ku bubaka obw’okusonyiwagana n’okutabagana

by Namubiru Juliet
March 29, 2024
in Amawulire
0 0
0
Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba mu Uganda 2024 – lyesigamiziddwa ku bubaka obw’okusonyiwagana n’okutabagana
0
SHARES
118
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bannaddiini abakulira enzikiriza z’abagoberezi ba Kristu mu Uganda mu kibiina kyabwe ekya Uganda Joint Christian Council baagala banna Uganda bannyikize enkola y’okuleeta emirembe n’okuwuliziganyanga bulijjo mu butakkaanya mu ddiini n’ensonga z’ebyobufuzi.

Mu bubaka bwabwe obw’amazuukira ga Kristu obw’omwaka guno, basinzidde ku kisaawe ky’essomero lya Old Kampala awabadde entikko y’okutambuza Ekkubo ly’Omusaala, nebasaba banna Uganda okutambulira ku kiragiro kya Krsitu eky’Okusaba, okusonyiwagana n’okutabagana ne bantu bannaabwe.


Obubaka buno busomeddwa bannaddiini okuli Ssentebe w’ekibiina kino era omwepisikoopi w’e Kiyinda Mityana, Rt. Rev Dr. Joseph Anthony Zziwa, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda The Most Rev Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ne Ssaabasumba w’Eklesia y’Abasoddookisi mu Uganda His Eminence Joronymous Muzeeyi.


Basabye government  ya Uganda okulondoola enkozesa y’emmundu mu ggwanga zeboogeddeko nti nnyingi ziri mu mikono emikyamu, zikozesebwa okutirimbula banna Uganda, nebasaba ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ne Police okukola obutaweera okuzuula abatemula banna Uganda era bavunaanibwe ng’amateeka bwegalagira.

Bategeezezza nti emmundu mu ngeri yeemu nnyingi zikosesebwa okuwamba n’okusengula abantu ku ttaka olwo bannansi bangi nebasigala nga mmomboze.

Basabye wabeewo obwenkanya ku nsonga y’ettaka ng’omugagga n’omwavu bakolwako kyenkanyi. Bategeezezza nti emirundi mingi waliwo abeeyita abagagga abakozesa emmundu okuwamba ettaka ly’abaavu ate nga era tebasobola kwekubira nduulu mu mbuga z’amateeka yadde okubeera n’ensimbi okufuna bannamateeka okubalwanirira.

Boogedde ku nsonga y’okukuuma obutonde bw’ensi nebasaba government enyweze  amateeka g’okutaasa n’okukuuma emigga, entobazzi, ebibira n’obutonde bw’ensi obw’engeri zonna.

Bavumiridde omuze ogulemedde mu banna Uganda ogw’okumansamansa ebicupacupa n’obuveera byebagambye nti nabyo kanaaluzaala ku buttoned bw’ensi obutoboddwa.


Mu ngeri yeemu bannaddiini bano bavumiridde obulyake n’obunenuzi obukudde ejjembe mu ggwanga kyebagambye nti buno bunafu bwa government ya NRM, ntu kubanga bweyali ejja mu buyinza, okulwanyisa enguzi yeemu ku nsonga ez’enkizo ezaali ku mwanjo wabula embeera eri mu ggwanga ku buli bw’enguzi eraga nti ate abakulu mu government abalyake babasiiga busiizi kazigo.

Bagambye nti obulyake n’obuli bw’enguzi buviiriddeko banna Uganda obutafuna buweereza nga bwebateekeddwa kubanga ensimbi ziggwera mu bantu ab’olubatu olwo banna Uganda abalala nebasigala nga beemagaza.


Mu Uganda buli mwaka ku Lwokutaano Olutukuvu , abakkiriza mu Kristu  okuli Abakatuliki, Abaprotestante ne Abasoddookisi batambuza Ekkulu ly’Omusaalaba eryawamu, ng’ebibinja eby’enjawulo biva ku lutikko ez’enzinjawulo olwo nebafuna ensisinkano eyaawumu ku kisaawe ky’essomero lya Old Kampala SS.

Ekkubo ly’omusaalaba lyetabyemu bannaddiini okuli abasseserdooti, abasisita, abaawule, abasumba n’abantu ba Katonda abalala bangi.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -